TOP
  • Home
  • Agookya
  • POLIISI ekakasizza okukwatibwa kw’omubaka Zaake

POLIISI ekakasizza okukwatibwa kw’omubaka Zaake

By Martin Ndijjo

Added 30th August 2018

Poliisi ekutte omubaka Zaake.emuggye ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe egamba abadde adduka mu ggwanga.

Zaw 703x422

Omubaka zaake gyebuvuddeko ng'assiza ku byuma

POLIISI ekakasizza okukwatibwa kw’omubaka wa Munisipaali y'e Mityana, Francis Zaake Butebi.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa, Emilian Kayima omwogezi wa poliisi mu ggwanga akawungezi ka leero, Kayima ategeezezza nti Zaake bamusanze ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ng’adduka mu ggwanga.

 kiwandiiko kya poliisi ku nsonga za aake Ekiwandiiko kya poliisi ku nsonga za Zaake

 

Kayima agamba nti Zaake y’omu ku bantu abanoonyerezebwako ku buvuyo obwali mu kampeyini z’omu kibuga Arua era abantu 33 bakwatibwa ne bagulwako emisango omuli okulya mu nsi olukwe n’okwonoona ebintu omuli ne mmotoka ya Pulezidenti eyakubwa amayinja.

Ayongeddeko nti Zaake yadduka ku basirikale ba poliisi abaali bamukuuma mu ddwaaliro lya Arua gye yaali atwaliddwa okufuna obujjanjabi.

 aake emisana nga bamutuusa ku kisaawe e tebe Zaake emisana nga bamutuusa ku kisaawe e Ntebe

 

Zaake abadde agenda mu Buyindi okwongera okufuna obujjanjabi okusinzira ku ba famire ye, Mu kiseera kino Zaake poliisi esazeewo kumutwala mu ddwaaliro e Mulago gy’agenda okumukuumira ng’okunoonyereza ku nsonga ze bwe kugenda mu maaso.

Ku kisaawe e Ntebe, Zaake okumukwata  bamuggye mu kasenge k'abakungu (VIP) era James Ruhweza akulira poliisi y'ekisaawe amuggyeeko paasipooti n'amutegeeza nti mukwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....