TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Poliisi gye yalemesezza Bobi Wine okufuluma eggwanga

Engeri Poliisi gye yalemesezza Bobi Wine okufuluma eggwanga

By Stuart Yiga

Added 31st August 2018

OMUBAKA wa Kyadondo East, mu Palamenti Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) Poliisi emulemesezza okugenda mu ggwanga lya Amerika gye yabadde agenda okwongera okufuna obujjanjabi.

Whatsappimage20180831at74337am 703x422

OMUBAKA wa Kyadondo East, mu Palamenti Robert Kyagulanyi Sentamu (Bobi Wine) Poliisi emulemesezza okugenda mu ggwanga lya Amerika gye yabadde agenda okwongera okufuna obujjanjabi.

Bobi Wine kigambibwa nti newankubadde azze ajjanjabibwa olw’obuvune obwamutuusibwaako ab’ebyokwerinda  mu munisipaali y’e Arua, gye yali agenze okuyiggira mukwanogwe obululu (Ezati Kasiano Wadri) mu kulonda okwali kutegekeddwa okujjuza ekifo ky’omubaka wa Palamennti owoomukitundu ekyo oluvannyuma lw’eyakirimu, Ibrahim Abiriga, okukubwa amasasi n’afa.

Bobi yaggiddwa mu ddwaaliro e Mulago gye yabadde asoose okutwalibwa n’atwalibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ku saawa nnya ez’ekiro kyokka ekiseera ky’okulinnya ennyonyi olwatuuse ab’ebyokwerinda nebamulemesa nga bagamba nti, yabadde taweereddwa lukusa lwakufuluma ggwanga.

Bobi yasoose kutuula mu mmotokaye eno ng’abolugandalwe bwe boogerezeganya n’abebyokwerinda kyokka olwalabye ng’essaawa y’okulinnya ennyini eggwaayo ate nga tebabakkiriza, n’asalawo n’asituka weyabadde atudde n’atandika okusimba emiggo gye mpolampola ng’ayolekera awali ennyonyi.

Abantu abaabadde bamuwerekeddeko Poliisi  yabagaanye okumugoberera ng’ebagamba nti kyabadde tekyetaagisa olw’ensonga nti, bo tebaabadde na gyebalaga.

Ekyo Poliisi olwakimaze, yakutte Bobi nebeyabadde agenda nabo mu Amerika, ne babateeka mu ambyulensi ne kabangali zaayo oluvannyuma ne bamuvuga okumutwala ku ddwaliro ly’e Kiruddu, gye yasuze.

Kinajjukirwa nti Omubaka wa munisipaali y’e Mityana-Francis Zaake, naye yaggiddwa mu ddwaliro ly’e Lubaga n’atwalibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

Zaake yabadde  asuubirwa okulinnya ennyonyi ya kampuni ya Ethiopian Airline, ayolekere eggwanga lya Amerika afune obujjanjabi kyokka Poliisi n’emulemesa.

Okusinziira ku looya w’Omubaka Asuman Basalirwa, ennyonyi yabadde yaakusitula ku  saawa munaana ez’olweggulo kyokka nebalemesebwa ng’aba kkampuni y’ennyonyi bagamba nti, baabadde bafunye ebiragiro okuva mu Poliisi nga babalagira obutatwala mubaka okutuusa ng’amalirizza ensongaze nabo.

Ono naye olwamulemesezza okulinnya ennyonyi, Poliisi yalangiridde nti mukwate era n’ateekebwa mu ambyulensi nebamutwala mu ddwaliro ly’e Kiruddu gy’asuubirwa okuggyibwa atwalibwe mu kkooti avunaanibwe emisango gy’okulya mu nsi ye olukwe nga banne abalala 33, bwe baavunaanibwa gyebuvuddeko mu kkooti eyatuula mu disitulikiti y’e Arua.

Bo bannamateeka b’ababaka bano okuli Medard Lubega Seggona wamu ne Asuman Basalirwa bewuunyizza Poliisi okugaana abantu baabwe okugenda omitala wamayanja okufuna obujjanjabi ate nga ssente zonna zaabadde zaabwe nga tekuli kikumi kuva mu gavumenti.

“Obuzannyo obuzanyibwa ku babaka bano nali mmanyi bwakoma mu biseera omubaka Celina Nebanda weyafiira naye kati ntuuse n’okulowooza nti oba oli awo waliwo abantu mu gavumenti abaagala okutta bannaabwe mu bugenderevu!”Bw’atyo Seggona bweyategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drstella1562588246355aspr1308w760h581e 220x290

Ogwa Dr. Stella Nyanzi okulebula...

DR. STELLAH Nyanzi, emisango gye egy’okuvuma President Yoweri Kaguta Museveni ng’ayita ku mukutu gwa facebook gya...

Luck 220x290

Empuliziganya kikulu mu bufumbo...

WADDE ssente omuntu asobola okuzifunira mu Uganda, kizibu kino okukikakasa abantu abamu y’ensonga lwaki buli olukya...

Coulple 220x290

By’okola okwewala ekyeyo okusattulula...

RACHEAL 49, yaakamala emyaka 15 mu bufumbo era balina abaana basatu. Emirimu agikolera bweru wa Uganda, wabula...

69403329063enmasterfile 220x290

Omusajja amalako weepimire ku luyimba...

OMUSAJJA amalako alina kwepimira ku luyimba lw’oku leediyo. Bw’ossaako oluyimba naawe n’otandika akaboozi, n’okooyera...

Forever 220x290

Brenda nvaako nze nfiira ku bakazi...

OMUYIMBI Chris Evans ayanukudde omuwala manya omukazi Brenda Nafula eyabadde ku pulogulaamu y’Abanoonya ku Bukedde...