TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Omumerika eyakuba omukozi wa woteeri asuze Luzira

Paasita Omumerika eyakuba omukozi wa woteeri asuze Luzira

By Stuart Yiga

Added 31st August 2018

OMUMERIKA Jimmy Taylor, 69, agambibwa nti yakkakkana ku mukozi wa woteeri ya Grand Imperial mu Kampala, Omulamuzi wa kkooti y'oku luguudo Buganda, Robert Mukanza, amusindise mu kkomera e Luzira.

Americanpastorarrestedinuganda 703x422

Omumerika Taylor ng'atwalibwa mu kaduukulu

Oludda oluwaabi terwalabiseeko mu kkooti  omuwawaabirwa bwe yabadde aleeteddwa eggulo (Ku Lwokuna)  era nga y’ensonga lwaki  omulamuzi  yasindise Taylor, mu kkomera gy’anaggyibwa olwaleero (Lwakutaano)  addemu okusomerwa emisango gy’okukuba omukozi wa woteeri ayitibwa Samanya.

Taylor,  mutuuze mu kibuga Arkansas ekisangibwa  mu Amerika, era emisango egimuvunaanibwa yagizza ennaku z’omwezi nga 17, August, 2018.

Ono bwe yabadde mu kkooti  yategeezezza nti alina obuzibu bw’okuwulira wabula ng’ebyo kkooti teyabitunuddemu n’eragira atwalibwe e Luzira.

Kinajjukirwa nti, akatambi akalaga Omuzungu ono ng’akuba, okuvuma n’okuboggolera omukozi wa woteeri kaatambula nnyo ku mikutu gya yintanenti era abaserikale ba Poliisi okuva ku CPS mu Kampala kwe baasinziira ne bamukwata n’aggalirwa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Omwana eyabuziddwawo asattizza...

Omwana eyabuziddwawo asattizza abazadde

Got2 220x290

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa...

Aba bbanka enkulu abaakwatiddwa bagguddwaako emisango 2

Mim1 220x290

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde...

Engeri muwala wa Mirundi gye yafudde ng’azaala

Pop1 220x290

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu...

‘Poliisi yaakazuula emmundu ssatu

Kat1 220x290

Eyasse owa Mobile Money bamukutte...

Eyasse owa Mobile Money bamukutte amasasi ne gavuga