TOP
  • Home
  • Agawano
  • Senkeeto bamukalize emyaka 10 lwa kulya obuwumbi 24 ez'oluguudo lw'e Katosi

Senkeeto bamukalize emyaka 10 lwa kulya obuwumbi 24 ez'oluguudo lw'e Katosi

By Stuart Yiga

Added 31st August 2018

OMUSUUBUZI Apollo Senkeeto amanyiddwa nga Mark Kalyesubula, asingisiddwa omusango gw’okubba ssente obuwumbi 24, ezaali ez’okukola oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi.

Apollosenkeeto 703x422

Apollo Senkeeto

Ono era omulamuzi wa kkooti ewozesa abalyaake   Lawrence Gidudu, yamuwadde ekibonerezo kyakusibibwa mu kkomera okumala emyaka 10.

Omulamuzi era yawadde Senkeeto ekibonerezo ekirala kyakusibibwa emyaka esatu ku buli musango ku egyo omukaaga egibadde gimuvunaanibwa.

Ku misango omukaaga, etaano ku ggyo, gya kujingirira biwandiiko n’afuna ssente mu ngeri y’olukujjukujju n’emirala etaano nga gya kufuna musingo nga yeefudde ky’atali.

Kigambibwa nti Senkeeto ye yali omuyima wa kampuni enzimbi eya ‘Eutaw’ era yeekobaana n’abba ssente mu kitongole ekikola ku byenguudo ekya ‘Uganda National Roads Authority’ (UNRA)

Kkooti era yasindise eyali diyirekita wa UNRA  avunaanyizibwa ku by’ensimbi n’abakozi, Joe Semugooma mu kkomera amaleyo emyaka etaano ng’emulanga kukozesa bubi ofiisi ye n’emirala etaano nga gya bulyake.

Omulamuzi era yakinogaanyizza nti Senkeeto ye yali wakati w’obubbi bw’ensimbi zonna ezaabula ng’ayambibwako mukwano gwe Omumerika, ekintu kye yagambye nti kyafiiriza abaali abakozi ba UNRA emirimu wamu ne gavumenti kuba eyaweebwa kontulakita empya yaweebwa obuwumbi obulala 250.

Kkooti wabula yejjeerezza eyali minisita w’ebyentambula, Ying. Abraham Byandala, Ying. Berunado Sebugga Kimeze (yakolako ng’akulira ekitongole kya UNRA), Marvin Baryaruha (eyali atwala eby’amateeka) wamu n’eyali omukozi wa bbanka ya Housing Finance, Isaac Mugote.

Omulamuzi wabula yeeremye okulagira abaasingisiddwa emisango okuliyirira ekitongole kya UNRA olw’okubulawo embalirira y’ensasaanya eyakolebwa ku luguudo okusobozesa okumanya obungi bw’ensimbi ezaabafiirizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...