TOP
  • Home
  • Buganda
  • Bakkansala batabukidde sipiika wa munisipaali y'e Mukono: Sooka ogobe abaserikale mu luggya lwa kanso tulyoke tuteese

Bakkansala batabukidde sipiika wa munisipaali y'e Mukono: Sooka ogobe abaserikale mu luggya lwa kanso tulyoke tuteese

By Henry Nsubuga

Added 31st August 2018

Abaserikale abaalabiddwako nga bakuba amasimu ag’okumukumu oluvannyuma baagondedde ekiragiro ne bambalira emmundu zaabwe ku migongo ne bagenda.

Mknkans1 703x422

Kkansala Katende ng'ayogera n'abamu ku basirikale ng'abasaba okwamuka oluggya lwa kanso ya munisipaali. (EKif. Henry Nsubuga)

Bakkansala ku lukiiko lwa munisipaali y’e Mukono baatadde omumyuka wa sipiika wa kkanso yaabwe, Susan Kiwuka ku nninga asooke kugoba baserikale ba poliisi abaabadde babagalidde emmundu mu luggya lwa kanso olwo olutuula lwa kanso gye yabadde akubiriza lulyoke lugende mu maaso.

Bakkansala okuli Ronald Mukasa, Jimmy Kalinda, Charles Luyidde n’abalala baakalambidde ne bagamba nti mu mateeka agafuga entuula za kkanso, kikakata ku sipiika okulaba ng’ekisenge omuteesezebwa oba mu kifo kyonna ekya kkanso, temuli baserikale balina byakulwanyisa ng’emmundu.

Bino byabadde mu kkanso eyatudde ku Lwokuna. Wabula Bakkansala okuli Peter Nsamba, Sams Baker Katende ne meeya yennyini, George Fred Kagimu baagezezzaako okuwagira eky’abaserikale ba poliisi bano.

Meeya Kagimu yagambye nti olw’obunkenke bw’ebyokwerinda obuliwo mu ggwanga mu kiseera kino naddala mu bibuga nga ne Mukono mw’ogitwalidde, gavumenti yasalawo okuteeka abaserikale ba poliisi oluusi n’abaamagye mu bifo by’ewulira nga byetaaga obukuumi nga noolwekyo bano baabadde tebaliiwo mu bukyamu.

Wabula ebyo bakkansala baabisambazze era gye byaggweeredde nga sipiika Kiwuka awaliriziddwa okulagira kkansala atwala eby’okwerinda, Sams Baker Katende agende alagire abaserikale bano baamuke oluggya lwa kanso.

Abaserikale abaalabiddwako nga bakuba amasimu ag’okumukumu oluvannyuma baagondedde ekiragiro ne bambalira emmundu zaabwe ku migongo ne bagenda.

Kigambibwa nti meeya Kagimu yabadde afunye okwekengera nti wandibaawo abantu kw’abo abazze bamenyebwa obuyumba bwabwe ne bizinensi zaabwe ezaali mu bibangirizi by’enguudo eby’enjawulo, okusalako kanso nga beekalakaasa, olwo bakkansala abalinnya mu kimu n’omubaka wa palamenti ow’ekitundu, Betty Nambooze bwe batassa kimu ne Kagimu mu kiseera kino, kwe kusalawo bamulemese.

Meeya Kagimu mu kwogera eri kanso, yagobye omu ku bakkansala abadde ku lukiiko lwe olukulembera ow’ebyensimbi, Charles Luyidde n’agamba nti ekifo ky’ono agenda kugira nga y’akyeddukanyiza okutuusa mu lutuula lwa kkanso olunaddako lw’anazzaawo omuntu omutuufu.

Wadde abamu baabadde bagamba nti ono yagobeddwa lwa nsonga za byabufuzi, ye sipiika Kiwuka yagambye nti Luyidde abadde talina ky’akola ku buvunaayizibwa obwamulondesa ng’ebbanga erisinga abaddenga taliiwo ng’ali mu kkomera olw’emisango gye ng’omuntu.

Kagimu era yategeezezza nga kanso bwe yabadde emaze okufuna abantu bassekinnoomu b’ekolagana nayo mu divizoni y’e Goma ne mu Mukono Central Divizoni bagipangise ebifo basobole okukola obutale obw’olukale abantu naddala ababadde batundira ku nguudo basobole okufuna ebifo mwe bakolera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...