TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omu ku bannamwandu ba Ssebaana Kizito aziikiddwa

Omu ku bannamwandu ba Ssebaana Kizito aziikiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

Okwewala okutabika okukungubaga mu maka ga Ssebaana Kizito, olumbe lwa nnamwandu eyafiridde ebweru lukyayimiriziddwa okukumibwa basooke bamalirize okuziika nnamwandu Eseza Nantongo Kizito. Bannamwandu ba Ssebaana Kizito bombi baafudde ku lunaku lumu.

Ssebaana1 703x422

Ruth Nassuuna Kizito ne muto we Moses Nkata nga boogerako eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyaabwe Eseza Kizito ku Lwokuna

ABAANA B’OMUGENZI John Ssebaana Kizito beeyawuddemu abamu ne basigala ku nnamwandu eyafiiridde e Bungereza ate abalala ne bagenda ku mugenzi Eseza Nantongo agenda okusooka okuziikibwa.

Omuwala omukulu Ruth Kizito azaalibwa Eseza Nantongo yatuukidde mu maziga olwa nnyina okufa kyokka banne babiri bwe babadde babeera  okuli  Joyce Kizito ne Christine  Kizito baasigadde Bungereza ku mulambo gwa nnyaabwe, Christine Ssebaana ogusuubirwa okutuuka oluvannyuma lwa wiiki ssatu.

Okwewala okutabika okukungubaga mu maka ga Ssebaana Kizito, olumbe lwa nnamwandu Christine Ssebaana Kizito eyafiiridde ebweru lukyayimiriziddwa okukumibwa basooke bamalirize okuziika nnamwandu Eseza Nantongo Kizito. Bannamwandu ba Ssebaana Kizito bombi baafudde ku lunaku lumu.

Nantongo ye yasooka okuzaala mu Ssebaana omwana omukulu Ruth Kizito era ye yaziikiddwa eggulo  e Kalamba Singo. Wabula abaana abalala basuubirwa okutuuka mu wiiki ssatu. Omusika wa John Ssebaana Kizito ayitibwa Joseph Kizito naye tannaba kutuuka kubanga okufa kumusanze yaakaddayo ng’amalirizza oluwummula mu Uganda kyokka akomawo.

 Mu kusabira omugenzi  Eseza Nantongo okwabadde mu kkanisa ya St. Peters e Kibiri ku Lwokuna nga kwakulembeddwa omusumba eyawummula, Rev. Stephen Musoke Malagala, yagambye nti Nantongo yafudde alokose era agenze bulungi.

“Yawonye ensi etaliimu miggo, okutulugunyizibwa wadde omukka ogubalagala,” Rev. Magala bwe yagambye.  

 Ate Ruth Kizito yagambye  nti maama we ku myaka 79 abadde mukyala mugumu nnyo era obulwadde bwa kkansa obwamusse asobodde okubulwanyisa okutuuka ku ddaala eryo.

Ekyewuunyisa maama w’omugenzi Eseza Nantongo akyaliwo nga wa myaka 98 kyokka akyalaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190716115246 220x290

ABANOONYA :Brenda Nafula eyeepikira...

ABANOONYA :Brenda Nafula eyeepikira omuyimbi Chris Evans

Ssenga1 220x290

Ebbaluwa ya ssenga: Omukozi oyagala...

NAMUKASA, wazaala naye ennyumba yafuuka ekizibu! Eno amabeere gatonnya, obubi bw‛omwana, omusulo wenna tofaananika....

Ssenga1 220x290

Maama w’abaana ayagala kundekawo...

TULINA abaana bataano era omwana waffe asembayo alina emyaka ebiri. Mukyala wange yansanga n’omukazi naye nakola...

Kab2 220x290

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu...

Omusuubuzi atutte ekiwandiiko mu kakiiko kakangavvule Paasita Bugingo

Ssenga1 220x290

Muwala waffe tomugaana kuzaala...

NAWULIZZA ku muwala waffe naye nasobeddwa bwe yaηηambye nti toyagala kuzaala kubanga wazaala dda abaana babiri....