OMU ku bawala ababadde bamanyiddwa ennyo mu kusaasaaanya obubaka obukwata ku bigenda mu maaso ku mubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine , nga bayita ku mikutu gya yintanenti adduse mu ggwanga.
Shakirah Birungi nga mutuuze w’oku Salaama Road, mu divisoni y’e Makindye mu Kampala, y’agambibwa okuba nga yadduse mu ggwanga ng’atya ebyagudde ku mukamaawe naye okumutuukako.
Okusinziira ku muganda we Shamim Nalubega, Birungi yasooka kusimattuka kukwatibwa bwe yali ku wooteeri ya Planet gye yali agenze ne mukamaawe okusaggulira Asuman Basalirwa, obuwagizi mu kulonda kw’omubaka wa Palamenti mu munisipaali empya ey’e Bugiri. Birungi kigambibwa nti kati ewezezza wiiki nga talabikako naye nga bakola kyonna ekisoboka okutegeera amayitire ge.
Abebyokwerinda bazze bakwata abantu ab’oku lusegere lwa Bobi Wine nga ne kanyama we, Edward Sebuufu amanyiddwa nga ‘Eddie Mutwe’ mw’omutwalidde. Ku Lwokuna lwa wiiki eno, omulamuzi wa kkooti enkulu, Musa Sekaana yafulumya ekiragiro eri ab’ekitongole ky’amagye ekya CMI wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti okuta Eddie Mutwe awatali kakkakkulizo konna