TOP
  • Home
  • Amawulire
  • poliisiObunkenke nga bassentebe mu Kampala Central balayira

poliisiObunkenke nga bassentebe mu Kampala Central balayira

By Musasi wa Bukedde

Added 1st September 2018

poliisiObunkenke nga bassentebe mu Kampala Central balayira

Lap1 703x422

Ba Kansala nga balayira ku ssomero e Kitante.

WAABADDEWO obunkenke mu kulayiza bassentebe ba LC mu Kampala Central abamu bwe baaganiddwa nti baliko ebiragiro bya kkooti ebitabakkiriza kulayizibwa era bwe baakitegedde ne beekalakaasa n’okutiisa okuyiwa omukolo.

Eyawangula mu Kikuubo Bashir Muwonge (FDC) ekiragiro kya kkooti yakyekangidde ku ssomero lya Kitante awaabadde omukolo gw’okubalayiza ne bakamutema nti takirizibwa. Kino kyamutabudde n’abavubuka abaabadde bamuwerekeddeko ne beekalakaasa nga bagamba nti ekiwandiiko kigingirire.

Abaserikale ba poliisi abaabadde beetabise n’amagye baayitiddwa ne babalagira okwamuka ekifo. Bashir Muwonge eyabadde awaga yeemuludde kyokka n’alekawo abawagizi be nga bakuuma.

Okulayira bwe kwatandise ne balaba ng’omu ku baabadde aba LC ,Roy Nantege agenda ku mmeeza we balayiriza ne basitula buto. Beekalakaasizza okutuusa Nantege bwe yafulumiziddwa mu kifo.

Okulayiza kwabaddewo ku Lwokuna nga kwakuliddwa Town Clerk wa Kampala Central, Robert Katungi ne kalaani Joseph Wabwiire ku mukolo ogwabaddeko omumyuka wa loodi meeya Hajjat Sarah Kanyike ne Meeya Charles Musoke Sserunjogi.

Bassentebe okwabadde Saadi Lukwago owa Muzaana mu Kisenyi, Sande Nkoyooyo owa Kasaato, Nsubuga Ganga owa Market View, Swaleh Tibamwenda owa Buwanika, Hajj Asuman Lukwago owa Blue Room , Edrisa Ssenyonjo, Kasim Lubowa owa Kagugube baacamudde abawagizi bwe baakubye ebirayiro ebyasaanyudde abantu mu lungereza. Ate ssentebe eyatemwaako amagulu gombi, Abdul Kamuli owa Kamwokya I B yasanyusizza abawagizi bwe yasituddwa n’aleetebwa okulayira .

Yagambye nti ye tamanyi kye yawa balonzi kubanLwamukaagaga teyanoonya wadde ku kalulu naye abantu baatambula nga bakamunoonyeza n’akafaananyi ke ye ng’atudde waka. Bassentebe b’ebyaalo abawera 130 be baalayiziddwa n’abalala 20 abatwaala emiruka egikola Kampala Central nabo ne bagoberera ku mukolo gwe gumu. Hajat Kanyike yategeezezza nti bawagire enkola ya Gavumenti esobola okuyamba abantu baabwe bave mu bwavu.

Charles Musoke Sserunjogi yategeezezza nti ye akkiririza mu kukolera abantu n’okuwagira eggwanga okugenda mu maaso. naye si kuwakanya buli kintu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...