TOP

Abbye omwana namusiba bba

By Musasi wa Bukedde

Added 1st September 2018

Abbye omwana namusiba bba

Lip2 703x422

EYABBYE omwana ow’emyezi ena ku nnyina n’amusiba bba, amwekengedde ng’alaba tamufaanana namutwala ku poliisi.

Betty Murekatete 27, yava ewa bba Umar Nsubuga omutuuze w’e Kyampisi e Mukono omwaka mulamba emabega ng’amugambye nti ali lubuto era agenze mu kyalo ewaabwe e Kisoro bwanaamala okusumulukuka alidda mu ddya. Nsubuga bulijjo amuweereza ssente z’okulabirira olubuto n’okumuyambako mu by’okuzaala ng’amanyi nti ddala mukyalawe ali lubuto.

Murekatete yamuleetedde omwana kyokka agenda okumwetegereza nga talina waamufaana wadde n’ebbanga lye yamugambye omwana lye yamuzaaliramu nga tebirina we bikwataganira kwe kuddukira ku poliisi y’e Kyampisi.

Murekatete poliisi yamukutte, omwana ne bamukwasa aba Kyampisi Child Care Ministries okumulabirira. Murekatete ku poliisi y’e Naggalama, yakkirizza nti kituufu omwana si yamuzaala wabula nnyina ye yamumuwa.

Bwe yabuuziddwa engeri gye yamumuwamu, yagambye nti, yamumuguza oluvannyuma lwa kitaawe okugaana okumuwa obuyambi ng’ate yali ayaByagala kutandika kukola. Yagambye nti, olw’okulemererwa okulabirira omwana nga ne kitaawe tamuyamba, nnyina Dusabe yasalawo amumuguze. Mu nteeseganya yamuwa 250,000/- asooke agende e Congo asuubule ebitengi oluvannyuma amwongereyo ssente endala.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, abaabadde banoonyereza ku musango olwategedde bino, baakubidde poliisi y’e Kisoro eyabagambye nti, nayo yali yaggulawo dda fayiro.

Abaserikale e Kisoro bannyonnyodde ab’e Naggalama enfaanana ya Murekatete ne babategeeza nti, nnyina w’omwana ye yali agguddewo omusango gw’okubbibwa kw’omwana we. Murekatete alina fayiro bbiri ey’e Naggalama CRB 125/2018 n’ey’e Kisoro gy’agenda okutwalibwa avunaanibwe ogw’okubba omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...