TOP

Engeri abasirikale gye baataasizzaamu Bebe Cool

By Martin Ndijjo

Added 2nd September 2018

Engeri abasirikale gye baataasizzaamu Bebe Cool

Rob2 703x422

Bebe Cool bwe yatandise okuyimba, abantu baabadde ng’abaduumire ne batandika okumukasukira amacupa ku siteegi. Bebe Cool yabadde muvumu n’agenda mu maaso okuyimba, kyokka abakuba ebidongo baalabye embeera etabuse ne babiggyako ne baggyako n’amataala ku siteegi.

Bebe Cool yasigadde ku siteegi n’aggyamu essaati n’awanika emikono okukkakkanya abantu abaabadde balekaana nti “aveeyo”. Abaserikale baagenze okumuggyayo n’agaana kwe kumuggyayo ku kifuba. Yabadde mu kivvulu ky’omuyimbi Tarrus Riley okuva e Jamaica e Lugogo ku Lwokutaano ekiro.

Ekivvulu kyajjumbiddwa nnyo.

Bebe Cool yabadde omu ku bayimbi abaalondeddwa okusanyusa abantu era ye yabadde alina okusembayo mu bayimbi ba Uganda olwo Omujamayika alyoke ajje ku siteegi. Bebe Cool aludde nga bamunenya obutavaayo ku nsonga za Bobi Wine. Kyokka naye abadde akidding’ana nti buli muntu waddembe okuwagira ky’ayagala.

Era ye tawagira baaludda luvuganya kyokka tabalinaako buzibu bagende mu maaso n’okuwagira bye baagala ate naye Bebe Cool awagire oludda lwa NRM lw’ayagala. Ekivvulu ekyabadde eky’okukuza emyaka 10 bukya kibiina kya Swangz Avenue kitandikibwawo kyatandise na bbugumu. Abayimbi ababadde tebakyawulizika okuli eyayimba “Mike ya Zigidi”, Maddox Ssematimba eyayimba Namagembe, Raba Daba n’abalala abaayimbirako mu Swangz bonna baabaddeyo.

Embeera yatabuse basuddemu oluyimba lwa ‘Love every day’ Bebe Cool kwe yajjidde ku siteegi, abamu ku bantu ne balekaana nti oyo tetumwagala, twagala “people power”. Eccupa ezaakasukiddwa mwabaddemu ez’amazzi, soda ne bbiya. Wadde emu ku ccupa yamwatikidde ku mutwe, kyokka Bebe Cool yasigadde mugumu. Abaserikale baamusindise okumuggya ku siteegi, kyokka n’alinnya amadaala n’addayo ng’agamba tayinza kukkiriza kutiisibwatiisibwa lwa ndowooza ye. Oluvannyuma yagondedde abaserikale n’agenda atuula ne mukazi we Zuena mu kifo ky’abakungu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...