TOP
  • Home
  • Agookya
  • Uganda ne Kenya bakkaanyizza ku kumalawo ebizibu ebikosa disitulikiti z’oku nsalo

Uganda ne Kenya bakkaanyizza ku kumalawo ebizibu ebikosa disitulikiti z’oku nsalo

By Henry Nsubuga

Added 3rd September 2018

Abakungu okuva mu disitulikiti ezinaanye ensalo ya Uganda ne Kenya okuva mu nsi ezo ebbiri bakkanyizza ku ngeri gye bagenda okuyitamu okugonjoola ebizibu ebirudde nga bikosa abantu abawangaalira mu bitundu ebyo.

Mkncom1 703x422

Kamisona Chimwaga (ku kkono), eyakuliddemu ekibinja eky’abaavudde e Kenya ng’awanyisiganya ebiwandiiko bye baataddeko emikono ne Haji Mayanja eyakuliddemu eb’e Uganda.

Eyakuliddemu ekibinja ky’abakungu okuli ba RDC, abakulira abakozi ba gavumenti, bassentebe ba zi disitulikiti ezo ssaako abakungu okuva mu woofiisi ya Ssaabaminisita ne mu wofiisi ya pulezidenti, Haji Sadiq Muhammad Mayanja yanokoddeyo ebizibu omuli obubbi bw’ebisolo, okukukusa abantu, okukukusa ebiragalalagala omuli enjaga n’omwenge ogw’obuveera nga bino okusinga biggyibwa mu Uganda ne biyingizibwa e Kenya, eby’obulamu, okuvuba, okukukusa eby’okulwanyisa omuli n’emmundu n’ebirala.

Ddyo oludda lw’e Kenya lwakuliddwamu kamisona, Mongo Chimwaga nga baabadde mu lukungaana olw’amaze ennaku 4 nga luyindira ku Rider Hotel e Seeta mu munisipaali y’e Mukono nga lwaggaddwawo ku Lwokutaano.

Haji Mayanja ku lwa Uganda ne kamisona Chimwaga baatadde omukono ku kiwandiiko omuli ebyatuukiddwako ku ngeri ey’okwangangamu ebizibu ebibadde bikosa ebitundu eby’okunsalo z’amawanga abari.

 aji adiq ayanja ku ddyo eyakuliddemu ekibinja ekya annayuganda ne kamisona himwaga owokusatu ku ddyo ku lwabe enya nga bateeka emikono ku biwandiiko Haji Sadiq Mayanja (ku ddyo) eyakuliddemu ekibinja ekya Bannayuganda ne kamisona Chimwaga (ow’okusatu ku ddyo) ku lw’ab’e Kenya nga bateeka emikono ku biwandiiko.

Ku nsonga y’okukusa abawala okuva mu Uganda nga bayisibwa e Kenya ne batwalibwa mu nsi z’Abawalabu, Kamisona Chimwaga yagambye nti ekizibu kino kisinga kukolebwa Bannayuganda bennyini abasalawo okujingirira ebiwandiiko ebibatwala ebweru w’eggwanga okugenda okukola mu nsi z’Abawalabu n’asaba gavumenti ya Uganda okukwatagana obulungi n’eya Kenya bangange ekizibu kino.

Yagambye nti bbo nga Kenya nga bali wamu ne poliisi y’ensi yonna mu kiseera kino nga balwana bwezizingirire okukwata abo bonna abeenyigira mu muze guno n’awa eky’okulabirako eky’abawala 60 be baakwatira e Kenya ne bakolagana ne gavumenti ya wano ne babakomyawo.

Haji Mayanja yagambye nti kati emyaka giweze 12 bukyanga omukago guno gugunjibwawo era nga bingi ebituukiddwako nga bayita mu nkolagana yaagwo.

Yasabye ebyo ebyatuukiddwako mu lukungaana luno amawanga gombi gafube okubiteekesa mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Condomismaelssempumatestimonywebuse 220x290

Enkozesa ya kondomu eneekutangira...

Okwesunga akaboozi ekisusse kiremesezza bangi okukozesa kondomu

Kab2 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze engeri butto w'obusigo bw'amapaapaali gy'akola ku maaso n'embuto ez'esiba...

Kig1 220x290

Akatabo ka Ham kawangudde engule...

Akatabo ka Ham kawangudde engule ey'okubiri

Kabaleeweb 220x290

Kabale Sharp bagikubye ne yeekwasa...

Kabale Sharp eya Big League, ewangudde Water FC, n'esannyalaza emikisa gyayo okwesogga liigi ya babinywera

Hajjathanifakawooya 220x290

Kkooti y'e Sembabule terina kaabuyonjo...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Sembabule, Hanifa Kawooya, asabye gavumenti okuzimba ekizimbe kya kkooti y’e...