TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luzinda akubyewo basatu omulundi gumu ne yeebaza Katonda

Bp. Luzinda akubyewo basatu omulundi gumu ne yeebaza Katonda

By Henry Nsubuga

Added 3rd September 2018

Omulabirizi w’e Mukono eyawummula, Elia Paul Luzinda Kizito (72) ne kabiitewe Florence beewuunyisizza abantu bwe babayise mu kusaba okw’okwebaza Katonda eyabawa ezzadde ely’abaana basatu lumu ku myaka gye baliko egy’okuwummula.

Mknflo2 703x422

Okuva ku ddyo, Canon Balamaze, Provost Ssebudde ne Rev. Amos Namwanja nga basitudde abaana wakati mu kusaba.

Bangi ku baakungaanye mu kusaba kuno baasooka kulowooza nti byakusaaga, emyezi esatu egiyise bwe baafuna obubaka obutegeeza nti omulabirizi Luzinda ku ffamire ye yali agasseeko abaana abalala basatu ab’omu ntumbwe ze.

Olw’okuba bangi babadde tebafunanga mukisa kulaba ku baana bano, omulabirizi bwe yabayise mu kusaba okw’okwebza enkoko baagikutte mumwa.

Okusaba kuno okwabaddewo ku Ssande olw’eggulo kwabadde mu maka ga Bp. Luzinda agansangibwa e Ngandu mu munisipaali y’e Mukono.

Kwakulembeddwa Provost wa Lutikko, Rev. Canon John Ssebudde ng’ayambibwako Rev. Canon Edward Balamaze ow’obusaabadinkoni bw’e Ndeeba, Rtd. Rev. Canon Yusuf Tubwomwe, Rev. Canon Enos Kagodo Kitto n’abalala.

Canon Kagodo nga ye ssaabadinkoni w’e Seeta ye yabuulidde n’asiima omulabirizi Luzinda olw’okusalawo okwebaza Katonda olw’ekirabo kino ekijjidde ku myaka ng’oba oly’awo omuntu atalina kukkiririza mu Katonda yandibadde takyakisuubira.

“Tekyali kiseera kyangu nnyo ng’abaana abo baggya mu nsi muno. Kye tuva tusaanidde okwebaza Katonda akola ebikulu, awanirira era atalyazamaanya ate akolera mu budde obutuufu,” Kagodo bwe yategeezezza.

Ono yatenderezza maama w’abaana bano olw’obuvumu bwe yayolesa okusitula olubuto olw’abaana abasatu sso nga n’olw’omwana omu abamu lubazitoowerera ne batuuka n’okwevuma ensi.

Mu kusaba wakati, abaana baafulumiziddwa mu nnyumba okubasabira nga wano abantu we baafunidde omukisa okujja okubalabako.  

Abaana bano buli omu yatuumiddwa amannya ana, okuli; Mercy Ezelesi Tulina Ndyowa, Grace Edith Mubeezi Nattembo ne Peace Elizabeth Atwagala Nsuutwa.

Bp. Luzinda yawasa Florence mu mwaka gwa 2011 oluvannyuma lw’okuba nga mukyalawe Margaret Kizito yali yafa mu kiseera ng’anaatera okuwummula obuweereza ng’omulabirizi w’e Mukono. Ye Luzinda abadde n’abaana abakulu ddala abaazaala edda ne baana bannaabwe naye nga ye kabiitewe Florence abadde eby’omwana bw’aluma abiwulira mu ngero.

Bwe yatuuse okwogera, maama w’abaana Florence Luzinda yawuniikirizza abantu ng’abattottolera  ebbanga ly’abadde amaze ng’asaba Katonda ekirabo ky’omwana nga tannamuddamu.

 aluzinda nga bali mu ssanyu Baluzinda nga bali mu ssanyu.

 

Florence yategeezezza nga bwe yafumbirwa mu mwaka gwa 2011 nga buli omu amutunuulira n’okumuyisaamu emimwa kyokka ng’emyaka musanvu mu bufumbo, abadde mu bulamu bwe bwonna talozanga ku ssanyu lya mwana.

Wadde nga yattottodde essanyu ly’ayitamu oluvannyuma lwa Katonda okumuwa ekirabo ky’abaana abasatu olumu, yategeezezza nti naye yayita mu kiseera kizibu ddala n’olubuto.

“Ennaku zino nfukamira okusaba Katonda ne ngamba nti oba nsabe ki, ebigambo byanzigwako nasigalira kumwebaza bwebaza nti weebale. Temuyinza kumanya kye nnali mpitamu, nze nnali sizaalanga ku mwana ku myaka gyange, era nga nneebuuza Katonda lwaki ebyange biggya luvannyuma.

Nagenda okufumbirwa omulabirizi nga buli omu yeebuuza nti y’oyo yalindanga ki? Kaakati bwe nnafumbirwa, mmanze musanvu mu bufumbo, ng’era abantu bagamba nti y’oyo yaba ki? Wabula nasigala nkaabirira Katonda nga mmusaba ekirabo ky’abaana.

Nawanga obweyamo obwa buli kika, ebya Katonda bizibu, yagamba nti emyaka nga bwe gibadde gikuyiseeko, ka nkuwe abaana basatu,” Florence bwe yannyonnyodde.

Ono era yagambye nti wakati mu ngeri ey’eky’ewuunyo, bwe yafuna olubuto yasooka kukitwala nga kyama ng’atya sitaani okumuswaza oba oly’awo ne bitabeera bituufu oba olubuto ne lutasobola kukula wabula nga yeebazizza Katonda olw’okumuwanirira n’olubuto olw’abaana abasatu wadde ng’ate ekiseera kye yayitamu eky’olubuto nakyo kyali kizibu nnyo.

Yakuutidde abawala abato obutapapira byabufumbo ng’ekiseera ekituufu tekinnatuuka ssaako abo abafumbiddwa abaana ne bababula obutageza kugenda mu basawo baganda kunywa nzaalo n’agamba nti enzaalo ezo zirina ebizibu bingi ebijja nazo.

Ne Bp. Luzinda yategeezezza nti engeri Katonda gy’amuyisizza mu kiseera ekyo, akizudde nga musajja omu ku bagagga abali mu Mukono kuba asobodde okuvujjirira kabiitewe ensimbi zonna n’okutuuka olwaleero.

Dr. Joseph KAfuuma omu ku basawo abaabudaabuda Florence okuviira ddala ng’ali lubuto n’okutuuka okuzaala yagambye nti mu kusooka ssikaani yasooka kulaba baana 4 wadde ng’ate oluvannyuma bwe baagenda bongera okumwekebejja ne balyoka balaba nga bali basatu.

Abantu ab’enjawulo boogedde ku ky’amagero kino. Ye Bp. Kupliano Dunstan Bukenya asabye Bp. Luzinda olw’okuzaala abaana abasatu atuumibwe erinnya lya Ssebaana ate mukyala we atuumibwe Nnabaana.

Ye Rev. Canon Capt. Titus Baraka yagambye nti Katonda yakiraba ng’obwa oly’awo wadde Luzinda mulabirizi, nga ssinga amuwa abaana abasatu ayinza okutendewalirwa okubaako obulombolombo bw’Abaganda bw’atuukiriza obwekuusa ku balongo bwa’tyo n’asalawo amuwe basatu ebyo biveewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....