TOP

'Mukomye okusosola abalwadde ensimbu'

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

"Ekizibu kino kivudde ku bantu abatandika okuzaala nga tebeekebezza bulwadde buno, abazadde abalagajjala okujjanjaba omusujja gw’ensiri mu baana ekivaako okubalinnya ku bwongo ne buvaamu ensimbu wamu n’abakyala abazaalira mu bamulerwa."

Ssekasambangasalakkeekikukkonoyedrkatongoleneanitamagoakulemberaekitongolekyarido 703x422

Ssekasamba ng'asala keeki. Ku kkono ye Dr. Katongole ne Anita Mago akulembera ekitongole kya RIDO

 

Abantu abalina abaana abalwadde b’ensimbu basabiddwa okukomya okubasosola wabula babayambeko okumanya engeri gye basobola okufunamu obujjanjabi okuva mu malwaliro ate bakomye n’okuloowooza nti ddogo.

Dr. Canaan Kateregga omukugu mu ndwadde z’obwongo mu ddwaaliro ekkulu e Masaka yategeezezza nti ekizibu kino kyeyongera olw’abantu abasinga okulowooza nti obulwadde buno libeera ddogo ne balemererwa okutwala ababulina mu ddwaaliro newankubadde nga eddagala erisobola okubujjanjaba gyeriri.

Bwe yabadde mu kibuga Masaka ku mukolo ekibiina kya Rural Intergrated Development Organization kwe kyatongolezza kaweefube w’okulwanyisa obulwadde buno mu Greater Masaka, Kateregga yayongeddeko nti okumalawo obulwadde buno essira lisaana kuteekebwa ku kusomesa bye balina okukola okuyamba abalina obulwadde buno naddala gye bayinza okuggya eddagala kubanga singa omulwadde ateekebwa ku bujjanjabi okumala emyaka 5  n’ataddamu kugwa bamutwala nti awonye.

“Mu kiseera kino eddwaaliro lifuna abalwadde b’ensimbu ebitundu 30-40 ku buli 100. Ekizibu kino kivudde ku bantu naddala abavubuka abatandika okuzaala nga tebeekebezza bulwadde buno, abazadde abalagajjala okujjanjaba omusujja gw’ensiri mu baana ekivaako okubalinnya ku bwongo ne buvaamu ensimbu wamu n’abakyala abazaalira mu bamulerwa abatalina bukugu kwewala mbeera eziyinza okuleetera omwana obulwadde,” bwe yategeezezza.

Kateregga yasabye gavumenti okwongera ku bungi bw’eddagala ly’ensimbu lye baweereza kubanga lya bbeeyi nnyo ng’empeke emu egula 1200/- oba 1500/- nga bweriba libaweddeko abalwadde kibazibuwalira okugula eddagala lino.

Nina Nankya eyawomye omutwe mu nteekateeka eno eyatuumiddwa ‘Purple Bench’ yagambye nti abaana abalina obulwadde buno basosolwa naddala mu masomero olw’endowooza enkyamu abantu ze balina ku bulwadde buno ng’essira bagenda kuliteeka ku kusomesa bantu ku nkwaata y’abalwadde n’obutabasosola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...