TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ali China mu lukuηηaana lw’ebyobusuubuzi

Museveni ali China mu lukuηηaana lw’ebyobusuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

PULEZIDENTI Museveni mutaka mu China gye yagenze okwetaba mu lukuηηaana lw’ebyobusuubuzi wakati wa China ne Afrika olutandika leero.

Unity 703x422

Pulezidenti Museveni, minisita Sam Kuteesa, mukyala we Janet Museveni n’omubaka wa Uganda e China, Crispus Kuyonga e China.

Olukung’aana luno oluyitibwa Forum on China-Africa Cooperation (FOCAC) lwakumala ennaku bbiri nga lwetabiddwaamu abakulembeze okuva ku lukalu lwa Afrika abatali bamu.

Olukuηηaana luno lusinga kwesigama ku ngeri amawanga mu Afrika gye gasobola okukolagana ne China mu byobusuubuzi, enguudo, amakolero, ebyamasannyalaze, emirimu n’ensonga endala ezisinga okuluma abantu ba Afrika.

Guno omulundi gwakusatu ng’abakulembeze ba Afrika ne China batuula okutema empenda okukulaakulanya Afrika ne China.

Olwasooka lwaliwo mu 2006 e Beijing mu China, olwaddako lwali South Afrika mu 2016 ate olwokusatu lwe lutandika leero.

Pulezidenti eyatuuse e China eggulo yawerekeddwaako mukyala we Janet Museveni, n’ayanirizibwa minisita w’ensonga z’ebweru Sam Kuteesa n’omubaka wa Uganda e China Crispus Kiyonga n’abakungu abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...