TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. n’ababaka temuyingirira balamuzi - Ssaabalamuzi Katureebe

Gavt. n’ababaka temuyingirira balamuzi - Ssaabalamuzi Katureebe

By Ali Wasswa

Added 3rd September 2018

Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe bwe yabadde aggulawo ebizimbe by’ekitongole ekiramuzi mu Disitulikiti y’e Ibanda n’eye Kiruhura, ebyawemmense obuwumbi obusoba mu busatu, yategeezezza nti ekitongole ekiramuzi kyetengeredde noolwekyo tewali agenda kubatiisatiisa k’ebeere Gavumenti oba ababaka ba Palamenti abatuuka n’okugamba nti bwe bataakole bye baagala baakubamma ensimbi.

Bart 703x422

Ssaabalamuzi Katureebe ng’ayanirizibwa nga yaakatuuka ku mukolo.

Katureebe yategeezezza nti ye talina ky’atya akola mirimu gye ng’omulamuzi era buli ky’aba asazeewo akikola nga talina muntu gw’attidde ku liiso.

Akulira ekitongole ekiramuzi, Yorokamu Bamwine yawabudde abantu okukomya okulowooza nti buli kimu baakukimalira mu kkooti eza waggulu n’agamba nti emisango egimu gyandimaliddwa kkooti z’ebyalo ne balema okuyiwaayiwa ssente.

Minisita ow’ekitongole ekiramuzi n’ensonga za Ssemateeka, Maj. Gen. Kahinda Otafiire yasekeredde abalowooza nti okwekalakaasa n’okulwanira mu Palamenti kye kijja okuggya Museveni mu buyinza n’abawabula nti Palamenti bagyeyambise ng’ekifo ky’okuteesa ebiyamba abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu