TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC egenda mu kkooti kuvunaana ba byakwerinda abaatulugunyizza bannabyabufuzi mu Arua

FDC egenda mu kkooti kuvunaana ba byakwerinda abaatulugunyizza bannabyabufuzi mu Arua

By Muwanga Kakooza

Added 3rd September 2018

FDC etegeezezza nti etandise okukung’anya obujulizi ku bantu abatali bamu omwabadde ababaka ba palamenti n’abalala abatulugunyiziddwaa ab’ebyokwerinda olw’obwegungo obwabadde mu ggwanga oluvannyuma lw’okulonda kw’ekibuga Arua ng’eyagala kubutwala mu kkooti evunaane abaabadde mu bikolwa bino kinomu.

Fdc2 703x422

Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda (kkono) ,eyavuyganyizza mu kibuga Arua mu kulonda okuwedde ku tikiti ya FDC, Bruce Musema (wakati) n'omumyuka wa ssentebe w'ekibiina e Nakawa Harriet Ssebuufu nga bali mu lukung'ana lwa bannamawulire e Najjanankumbi.

FDC etegeezezza nti etandise okukung’anya obujulizi ku bantu abatali bamu omwabadde ababaka ba Palamenti n’abalala abaatulugunyiziddwaa ab’ebyokwerinda olw’obwegungo obwabadde mu ggwanga oluvannyuma lw’okulonda kw’ekibuga Arua, eyagala kubutwala mu kkooti evunaane abeenyidde mu bikolwa bino ssekinnoomu.

Ababaka ba palamenti  okuli; Robert Kyagulanyi  amanyiddwa nga Bobi Wine (Kyadondo East), ow’ekibuga Mityana Francis Zzaake, Paul Mwiru owa Jinja East, ne Bannayuganda abalala abawerako banyiga biwundu bya miggo n'amasasi  ebyabakubwa ab’ebyokwerinda oluvannyuma lw’obwegungo obwabuutikidde ebitundu by’eggwanga ebitali bimu oluvannyuma lw’okulonda kw’ekibuga Arua.

Kino kyaddiridde ebigambibwa nti waliwo abaakanyugira emmotoka za Pulezidenti Museveni amayinja ng’agenze mu Arua okuyiggira owa NRM Nusura Tiperu akalulu. Okulonda kwawangulwa Kasiano Wadri ataalina ludda.

Omwogezi w’ekibiina kino, Ssemujju Nganda, abadde n’abakungu baakyo e Najjanankumbi ku lw’e Ntebe agambye nti abakulembeze ba FDC baatudde ne bakola lipooti ey’ekiseera ku byabadde mu kulonda kwa Arua n’ebyo ebyaddiridde. Era oluvannyuma bagenda kwongera okugyekenneenya bakole ey’enkomeredde  gye bagenda okusinzirako okulaba ekigenda okuddirira.

" Ababadde emabega w’effujjo lino tugenda kubatwala mu mbuga z’amateeeka  ssekkinnoomu bavunaanibwe,’’ Semuju abadde  n’eyavuganyizibwa mu kulonda ku tikiti ya FDC n’awangulwa, Bruce Musema bw'agambye.

Musema agambye nti ng’oggyeeko abakulembeze aboogerwako amawulire waliwo abantu ba bulijjo bangi abaasigadde nga banyiga biwundu olw’obuvuyo buno.

Ssemuju ayongeddeko nti FDC egenda kusigala ng’erwanirira eddembe ly’abaatuusiddwaako ebisago. Ne yeemulugunya olwa gavumenti okuyiwa amagye ku nguudo ne geddiza omulimu ogwandibadde ogwa poliisi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lam2 220x290

Bp Luwalira akuutidde abakristaayo...

Bp Luwalira akuutidde abakristaayo okubulira enjiri ey'amazima

Gatta 220x290

Maama eyatta abaana be ababiri...

Omukazi eyasala abaana be ng’embuzi, emirambo n’agyebasa mu kisenge ky’ennyumba ya taata we (Jjajja w’abaana) yamazeeko...

Dat2 220x290

Ab'e Lusanja baggyemu ssnetebe...

Ab'e Lusanja baggyemu ssnetebe waabwe obwesige

Makulu 220x290

Ab’e Mpererwe baloopye OC wa poliisi...

ABAKULEMBEZE b’ekyalo kye Nammere e Mpereerwe balaze obutali bumativu kw’atwala poliisi y’omu kitundu kyabwe gwe...

Ret2 220x290

Latif Ssebaggala abuuliridde abawooweddwa...

Latif Ssebaggala abuuliridde abawooweddwa