TOP
  • Home
  • Agawano
  • Aol ayagala Gav't esseewo etteeka ekkakali ku bakozi baayo abatyoboola eddembe ly'obuntu

Aol ayagala Gav't esseewo etteeka ekkakali ku bakozi baayo abatyoboola eddembe ly'obuntu

By Muwanga Kakooza

Added 3rd September 2018

AKULIRA oludda oluvuganya mu palamenti, Betty Aol Ocan asabye wassibwewo amateeka amakakali agakangavula abeebyokwerinda abatyoboola eddembe ly’obuntu mu ngeri ya ssekinnoomu.

Ochan 703x422

Aol Betty Ochan akulira oludda oluvuganya Gavumenti

Yagambye nti entegeka eziriwo kati ssi nnambulukufu bulungi kuyamba muntu atyoboddwa ddembe lye kwekubira bulungi nduulu mu kkooti akikoze naddala bw’aba mukuumaddembe n’avunaanibwa nga ssekinnoomu.

Yagambye nti Bannayuganda abamu banaku nga tebasobola kwesasulira balooya kubawolereza bwe baba batyoboddwa eddembe lyabwe n’agamba nti bano beetaaga kuyambibwa mu ngeri ey’enjawulo.

Bino yabitegeezezza ali mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyamateeka akali mu kwekenneenya ebbago ly’etteeka ly’okulwanyisa okutyoboolebwa kw’eddembe ly’obuntu erimanyiddwa nga Human Rights (Enforcement) Bill.

Yagambye nti abatyoboola eddembe ly’obuntu basaanidde kuvunaanibwa mu ngeri ya ssekonnoomu so ssi kwerimbika mu kuba nga bakola mirimu gya gavumenti.

Yasabye etteeka lissibwemu akawaayiro akassaawo ensawo omusobola okuggyibwa ssente z’okuliyirira abantu ababa batyobooleddwa eddembe lyabwe  kuba abamu kkooti ziragira okubasasula nga gavumenti terina ssente ne balwawo okusasulwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda