TOP

Bobi Wine awandiikidde mikwano gye ebbaluwa

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

Bobi Wine asinzidde mu Amerika n’awandiika obubaka nga yeebaza mikwano gye mu nsi yonna okumuwagira n’abategeeza nti yatuuse bulungi era leero lwasuubira okusisinkana abasawo batandike okumwekebejja n’okumujjanjaba.

71c9370cf5004a69a0124e91319bb138 703x422

Bobi Wine ne Barbie nga bali mu Amerika

“Ntwala omukisa okwebaza abantu mwenna abayimiridde naffe mu kiseera kino ekizibu kye tubaddemu.

Nneebaza Katonda olw’okwongera okumpa amaanyi n’obuvumu wakati mu bulumi. Mu kiseera ekitali kyewala, nja kubattottolera byonna bye nzize mpitamu okuva nga August 13, 2018’’.

Bobi Wine bwe yategeezezza ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook. Era yeetondedde abaana be: Shalom, Shadrack ne Ssuubi obutadda waka kubeerako nabo mu biseera by’oluwummula n’abasaba bongere okumusabira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi