TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nnamukadde w'emyaka 86 akikubye ekirayiro ky'obwassentebe

Nnamukadde w'emyaka 86 akikubye ekirayiro ky'obwassentebe

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd September 2018

WABADDEWO katemba mu kulayiza bassentebe okuva ku byalo 456 ebikola disitulikiti y'e Lwengo bwe musitukidemu nnamukadde Servest Kawooya ow'emyaka 86 atakyasobola kutambula, okwogera nga n'okuwulira tawulira, bw'azze n'abawagizi be okukuba ekirayiro.

Sentebewekyalokyekaswasarvestkawooyaekirayiroyakikubyeatuddemukatebeolwamanyiamatonogalina 703x422

Mzee Kawooya (atudde mu ntebe) ng'alayira ku bwassentebe bw'e Kaswa

 

Nnamukadde Kawooya oluleteddwa ku kituuti awakubiddwa ebirayro yasoose kuzibwayo nga balowooza nti aliko mutabaniwe eyawangula ekifo ku kakiiko k'ekyalo gwaze okuwelekerako wabula kibabuuseko abamu ku bawagizibe okubadde ne Mutabaniwe ategerekeseeko erya Kalule bwebakatemye abakulembedemu okulayiza basentebe bano nebabategeeza nga Nnamukadde  Kawooya ye sentebe omulonde era owamazima. 

Enduulu ekoyezza nga bacacanca okutuusa amyuka akulira abakozi mu Lwengo, Anatoli Bukeera, akulembedemu omulimu gw'okubalayiza okutumya akatebe nnamukadde kw'aba atuula asobole okukuba obulungi ekirayiro kye olw'okukankana kw'abaddeko nga tasobola kuyimirira yadde eddakiika essatu. 

Kawooya ye ssentebe w'ekyalo Kaswa mu ggombolola y'e Kkingo mu disitulikiti ey'e Lwengo. 

Gye buvudeko ssentebe wa disitulikiti eno, George Mutabaazi yalayira obutaddamu kukola ne bassentebe b'ebyalo abakaddiye ng'agamba nti bamukooya bukooya wabula tetumanyi oba ono anaakola naye. 

CAO Bukeera akuutidde bassentebe bano obutettantala mu mulimu gw'obulamuzi okutuusa ng'omulamuzi abalayiza era basentebe baabadde bakukuba ebirayiro bina (4) ne bakubako bisatu (3) byokka okubadde eky'okukuuma ebyama bya gavumenti, okunyweza eby'okwerinda mu kitundu n'okuleeta enkulaakulana mu bitundu byabwe. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda