TOP
  • Home
  • Agookya
  • Poliisi ekkirizza Zaake okuyimbulwa: Abasawo 15 bamwekejjezza n'asimbula okwolekera Buyindi

Poliisi ekkirizza Zaake okuyimbulwa: Abasawo 15 bamwekejjezza n'asimbula okwolekera Buyindi

By Stuart Yiga

Added 3rd September 2018

KYADDAAKI Poliisi ekkirizza okuyimbula Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake ku kakalu kaayo. Abasawo bamwekebejjezza n'akkirizibwa okugenda ebweru okufuna obujjanjabi

Ekiwandiikopoliisikweteereddeomubakafranciszaake 703x422

Ekiwandiiko Poliisi kw'eteeredde Zaake. Ku ddyo ng'abasawo bamwekebejja

Ono nga  tannayimbulwa Poliisi yasoose kumuggulako emisango ebiri okuli ogw’okulya munsi olukwe, eri ku fayiro ARU CRB 3444/2018, n’okugezaako okutoloka.

Okusinziira ku munnamateekaawe Nicholas Opio, Zaake alagiddwa  okweyanjula eri Kaminsona wa Poliisi avunaaniyizibwa ku misango gy’ebyokulonda ku kitebe kya bambega e Kibuli nga 3,10,2018, ku ssaawa 4 ez’oku makya.

Ono ku bamweyimiridde  kubaddeko ne ssentebe wa disitulikiti y’e Mityana, Joseph Luzige wamu n’Omubaka wa Mukono South era nga y’akulira akabondo k’ababaka abava mu Buganda, Johnson Muyanja Sennyonga.

Ye  eyeeyimiriddwa kigambibwa nti agaanye okussa omukono gwe ku kiwandiiko kya Poliisi naye nga kino tebakitutte nga kikulu.

Bino bigenze okubaawo nga bambega balemereddwa okujja siteetimenti ku mubaka olw’embeera embi gy’abaddemu.

Abasawo ba Gavumenti 15 bamwekebejjezza

Zaake era yeekebejjezeddwa ekibinja ky'abasawo ba Gavumenti 15 abamukkirizza okugenda ebweru okufuna obujjanjabi obusingawo era Ambyulensi n'esimbulirawo okwolekera ekisaawe ky'ennyonyi e Ntebe. 

We zinaawera essaawa 12 n’eddakiika 45, ajja kuba asimbula okuva ku kisaawe e Ntebe, ayolekere eggwanga lya Buyindi gy’asuubira okufuna obujjanjabi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mugimu1 220x290

Eby’omugagga poliisi gwe yatwalako...

DOKITA omugagga w’omu Kampala abadde attunka ne poliisi emuddize ssente ze baamunya­gako asangiddwa ng’afudde mu...

Lyagondamarketinghisbamboocharcoalwebuse 220x290

Engeri ennyangu gy'okola amanda...

Kola amanda mu mabanda ofune ekiwera nga bw'okuuma obutonde bw'ensi

Kita 220x290

Kitatta waakumala wiiki endala...

EBYA Abudallaha Kitatta okuva mu kkomera byongera oku­wanvuwa buli olukya n’eggulo byagaanyi oludda oluwaabi bwe...

Kawooya2 220x290

Kitaawe wa Kirumira agobye abaserikale...

“Omwana wange baalemwa okumuwa obukuumi ng’akyali mulamu n’attibwa mu bukambwe kati okukuuma amaka ge nga yafa...

Bobius1 220x290

Tewali Muzungu ampa ssente okutabula...

“Tusabire eggwanga lyaffe Katonda ayongere okuggula amaaso n’emitima gy’abatukulembera bamanye nti baliwo kuweereza...