Isaac Lukwago (22) ne Enock Lukwago (24) be baakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebintu ebibbe mu kiyumba kye babadde basulamu e Kabumbi.
Poliisi okukwata abavubuka bano kyaddiridde omu ku batuuze okuddukira ku poliisi ng’agitegeeza nga bw’aliko ebintu bye ebyabbiddwa era poliisi mu kunoonyereza n'egwa ku bavubuka bano n’ebintu ebibbe mu kiyumba nga bali mu kwefuweetera njaga.

Atwala poliisi y'e Kabumbi, Yunusu Sebirumbi yategeezezza nti baludde nga banoonya abavubuka abatigomya Kabumbi nga bateega abantu, okubabbako ebyabwe ssaako okumenya amayumba gaabwe era n'ategeeza nti bano bagenda kumuyambako okunoonya abalala be bakolagana nabo.
Bano bagguddwako omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD REF 04/02/09/2018 era baakutwalibwa mu kkooti bawerennembe n’omusango guno.