TOP

Daniella oluyimba lwa Dorotia lumunyiiza.

By Martin Ndijjo

Added 4th September 2018

Chameleone agaanye okuyimba oluyimba lwa Dorotia kubanga lunyiiza mukyala we Daniella Atim Mayanja

Dan 703x422

Chameleone ne mukyala we Daniella

Jose Chameleone agambye nti tagenda kuddamu kuyimba luyimba lwa Dorotia kubanga lunyiiza mukyala we Daniella Atim Mayanja

Bwe yabadde ayimba ku mukolo ogwagaddewo olukung’aana lwa Bannayuganda abali ku kyeyo abeetaggira mu kibiina kya Uganda North American Association (UNAA) e Seattle mu ssaza ly’e Washington ku Mmande.

Yasoose kukuba baddigize miziki egy’okumu kumu egyabafuukudde. Oluvannyuma yasirisizza mu n’abawa omukisa okusaba ennyimba enddala zebaahgala abayimbire.

Waliwo abayanguiye okuddamu nti “tukubire Dorotia’ wano Chameleone eyabadde ayogera mu ddoboozi ekkangufu yabazzemu nti

Olwo mulukevo musabe enddala kubanga buli lwenduyimba mukyala wange Daniela lumunyizza.

Dorotia lwe lumu ku nnyimba za Chameleone ezasooka era mu luyimba luno yayimba ku Dorotia eyaali mukyala we maama wa muwala we omukulu Ayla Mayanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai