TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka musse ekitiibwa mu bukulembeze lwe mujja okuyita obulungi mu nsi - Nadduli

Abavubuka musse ekitiibwa mu bukulembeze lwe mujja okuyita obulungi mu nsi - Nadduli

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2018

Yasinzidde mu lukiiko lw'abavubuka ku kisaawe e Lukomera mu ggombolola y'e Katikamu mu Luweero n'asekerera abavubuka abavuma abakadde nti nabo gye balaga n'abawa amagezi okubeyambisa okubebuzaako kunsonga ez'enjawulo.

Hajinaddulingatuukakumukolokukkonoyerdcwaluweeroalicemuwanguzi 703x422

Nadduli ng'atuuka ku mukolo gw'abavubuka e Luweero. Ku kkon, ye Alice Muwanguzi, omubaka wa Pulezidenti e Luweero

Bya Samuel Kanyike             

MINISITA atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli asabye abavubuka okussa ekitiibwa mu bakulembeze n'okugondera ebiragiro n'amateeka lwe bajja okuyita obulungi mu nsi. 

Yasinzidde mu lukiiko lw'abavubuka ku kisaawe e Lukomera mu ggombolola y'e Katikamu mu Luweero n'asekerera abavubuka abavuma abakadde nti nabo gye balaga n'abawa amagezi okubeyambisa okubebuzaako kunsonga ez'enjawulo. 

Yabasabye beekolemu ebibiina by'obwegassi, obutanyooma mirimu n'okubaako ebintu bye batandikawo ebivaamu ensimbi gavumenti ebakwatireko bakolerera obukadde bwabwe. 

RDC wa Luweero Alice Muwanguzi yasabye abavubuka okwemalira ku bintu ebibayamba beemalire mu kukola lwe bajja okwesamba ababakozesa okubatwala mu buvuyo obuyinza okubaviirako okusibira mu makomera. 

Kansala w'abavubuka ku lukiiko lwa disitulikiti Victor Nabukenya yasiimye ekibiina kya Heifer International olw'okubategekera omusomo guno n'asaba gavumenti okwongera kunsimbi z'ebawa basobole okwekulaakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA