TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kampuni 8 zitaddeyo ebiwandiiko okusaba omulimo gw'okukola oluguudo lwa Kampala - Jinja Expressway

Kampuni 8 zitaddeyo ebiwandiiko okusaba omulimo gw'okukola oluguudo lwa Kampala - Jinja Expressway

By Samuel Balagadde

Added 4th September 2018

Gavumenti ya Uganda ng’eyambibwako abavujjirizi b’obuyambi yaakussaamu ssente doola obukadde 400 ate kkampuni enaaba eyiseemu okukola egenda okuba ng’essaamu doola obukadde 600 nga zaakununulibwa oluvanyuma lw’emyaka 30 ng’eyita mu kusoolooza ab’ebidduka abagenda okulweyambisa.

Jinjaexpreewaybids2 703x422

Ku ddyo Allen Kagina ng'ayogera n'abamu ku beetabye ku mukolo gw'okusumulula amabawula agasaba okukola oluguudo lwa Kampala -Jinja Expressway ku kitebe kya UNRA ku Mmande

KKAMPUNI munaana zeezissizzaayo amabalawa  agasaba  okussa  ssente mu kukola oluguudo lwa Jinja  Expressway okuli obuwanvu bwa kilometer 77.

Oluguudo luno  nga lwe lunene olusoose mu byafaayo bya Uganda, kampuni enaaweebwa kontulakiti okulukola yaakulussaamu ssente ezirukola  oluvannyuma baziggyeyo mu  kusolooza  ensimbi  ku beebidduka  abagenda  okulweyambisa kuba lugenda kuba lwa kusasulira.

Kkampuni omunaaana  ezassizaayo okusaba  okukola  oluguudomluno mulimu  Chinia Communication Construction Company (CCCC) nga bano  hga beebali ku lwa  Jinja  Expressway nga bali wamu ne  China Highway Engineering Company.

Abalala mulimu;  KJ Connect, STRABAG, ENKULA Expressway,  CCECL and CRCCIG, SHAPOORJI PACCONJI ,TECNASOL LUISA  CONCAL  ne  CCKS.

Allen Kagina akulira ekitongole kya  UNRA mu kusabuukulula amabaasa  gaabo abaataddemu okusaba okukola  oluguudo luno yategeezezza ng'asinziira ku kitebe kya UNRA e Nakawa nti eky'okulaga abasabye kontulakiti bakikoze  okwongera okulaga obulambulukufu mu nteekateeka eno  okusobola okuziba emiwaatwa egiyinza okubaawo mu banaaba  tebayiseemu  okukaayana.

Oluguudo luno  olugenda okutandika ku Shoprite e Lugogo (awagenda okussibwa ettaawo ly'abeebigere) lwakuyisa emmotoka  nnya  bulu ludda  zonna awamu ze munaana  ate bwe lutuuka  e Kyambi  olwo zikendeera zidde  ku mmotoka ssatu bulu ludda.

Gavumenti ya  Uganda  ng’eyambibwako abagabirizi b’obuyambi  yaakussaamu ssente doola   obukadde 400  ate kkampuni enaaba eyiseemu okukola  egenda okuba ng’essaamu  doola obukadde 600  nga zaakununulibwa  oluvanyuma lw’emyaka 30 ng’eyita mu kusoolooza ab’ebidduka abagenda okulweyambisa.

Kagina yategeezezza nti mu bbanga lya myezi ebiri bagenda  kuba bamalirizza okusunsulamu kkampuni enaaba  ezisenze  ku zinnaazo okuba   n'ebisanyizo wabula ng'okuliyirira abantu  abagenda  okukosebwa  oluguudo lunbo kugenda mu  maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja