TOP
  • Home
  • Agawano
  • Minisita Namuganza asingiddwa ogw’okuvvoola Sipiika

Minisita Namuganza asingiddwa ogw’okuvvoola Sipiika

By Kizito Musoke

Added 5th September 2018

AKAKIIKO ka Palamenti akakwasisa empisa kasalidde minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza omusango gw’okuvuma n’okuvvoola Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga ne gumusinga.

Pala 703x422

Minisita Namuganza

Bino biri mu lipooti y’akakiiko akaakubirizibwa Clement Obote Ongalo (NRM-Kalaki County) gye kaamalirizza ng’esuubirwa okwanjulwa mu lukiiko lwa Palamenti ekiseera kyonna.

Akakiiko kano kaatandika okubuuliriza ku butakkaanya buno nga March 27, 2018 oluvannyuma lw’omumyuka wa Sipiika, Jacob Oulanyah okubalagira okubuuliriza ku butakkaanya bwa Namuganza ne Kadaga obwali bufuuse namulanda ng’amabeere g’embwa.

Namuganza lwe yalabika mu kakiiko nga March 28, yatulika n’akaaba bwe yali abattottolera ennaku Kadaga gye yali amutuusizzaako kuba yali ayingiridde ensonga z’essaza lye Bukono n’atuuka n’okutuuza omulangira Nkono nga February 27, 2018 ng’akimanyi nti eno famire mw’ava.

Yategeeza nga bwe yalina obujulizi okuli n’obutambi nga Sipiika Kadaga akunga abantu okumulwanyisa, n’agattako nti ekisinga okumuluma kwe kuba nga takyasobola wadde okunywa amazzi mu famire gye bamuzaala kuba waliwo abaagulirirwa basobole okumulwanyisa.

KADAGA ANNYONNYOLA

Akakiiko kaasisinkana Kadaga n’abannyonnyola ku butakkaanya bwe ne Namuganza.

Yeewunyisa Namuganza okugamba nti yali tamwagaliza bwaminisita n’ategeeza nti; “Kisoboka kitya okuba nga nali simwagaliza omuntu gwe nali siwulirangako mu nsi nti gy’ali.

Akakiiko ke nkubiriza ke kaakakasa Namuganza ku bwaminisita olwo lwaki saamulwanyisiza eyo ne mmulemesa?’’ Kadaga yeegaanye eby’okutuuza omulangira w’e Nkono n’ategeeza nti yayitibwa mu mukolo guno ng’omugenyi omukulu.

N’agattako nti omukolo gwali gwa kulayiza baami ba ssaza kuba Nkono yali yalondebwa dda Kyabazinga Gabula Nadiope.

EBYAZUULIDDWA

Namuganza yakkiriza mu kakiiko nti yavuma Kadaga n’atuuka n’okumulangira obukadde, okutabula Obwakyabazinga n’okumuyingirira mu kitundu ky’akiikirira nga tamaze kumutegeezaako.

Wadde nga Namuganza yaleeta obutambi bwa mirundi esatu ng’alumiriza nti Kadaga mwe yamuvumira, naye tewali katambi kalaga ng’amuvuma era ababaka ne beewuunya gye yakiggya.

Wabula akakiiko kaalemeddwa okulaga ekibonerezo ekisaana okumuweebwa, era ensonga baazirekedde Palamenti eyawamu y’eba esalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa