TOP

Kayihura agenze Nairobi kujjanjabibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th September 2018

AMAGYE gannyonnyodde ku mmotoka kapyata eyaweereddwa Gen. Kale Kayihura ng’eriko ennamba za Minisitule y’ebyokwerinda UG 0260D ekika kya Toyota Land Cruiser V8 n’ey’abakuumi, Toyota Hilux mw’atambulira kati.

Kayihurastuart26 703x422

Gen. Kale Kayihura

BYA JOSEPH MAKUMBI NE MARGRET ZZIWA

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, Kayihura akyali mujaasi wa UPDF.

Yagambye nti, akyalindiridde okuweebwa omulimu omulala mu magye nti kyokka, okuvuga emmotoka eriko ennamba za Minisitule y’ebyokwerinda si kipya kubanga amagye gali wansi wa minisitule eno.

Yagasseeko nti, abajaasi bangi abavuga emmotoka eziriko ennamba za Minisitule y’ebyokwerinda nga tebagirinaamu ofi isi yonna.

Yawadde ekyokulabirako kya Lt. Gen. Jerome Mugume, omumyuka we Lt. Col. Deo Akiiki n’abalala abavuga emmotoka eziriko nnamba za Minisitule y’ebyokwerinda.

“Tusalawo busazi okuvuga ennamba z’amagye oba eza Minisitule y’ebyokwerinda tewali tteeka litukugira kw’ekyo,” Brig. Karemire bwe yategeezezza.

Ku Mmande bwe yabadde agenze okweyanjula ku kkooti y’amagye nga bwe yalagirwa bwe yali ateebwa ku kakalu ka kkooti, Kayihura yabadde mu mmotoka mpya n’abakuumi be ab’amagye kati baatambula nabo, baabadde ku mmotoka mpya ttuku.

AGENZE BWERU KUMUJJANJABA

Olwavudde ku Kkooti ku Mmande, Kayihura kigambibwa nti yalinnyiddewo ennyonyi okugenda okulaba abasawo be e Nairobi mu Kenya bamwekebejje.

Emu ku nsonga ze yawa bwe yali asaba akakalu ka kkooti, yategeezezza nti mulwadde era yeetaaga okwekebejjebwa abasawo abakugu ate nga tebali mu Uganda.

Yagambye nti, abasawo be omu ali Kenya n’abalala bali mu mawanga amalala.

Kyategeerekese nti, bwe yabadde yeeyanjula, yasabye olukusa okugenda ebweru w’eggwanga bamujjanjabe era n’akkirizibwa. Ku Lwokubiri, Kayihura yabadde alina okubeera mu kkooti y’amagye nga bwe yalagirwa okuwulira omusango gwe kyokka teyalabiseeko.

Omu ku bannamateeka be, Elison Karuhanga okuva mu Kampala Associated Advocates (KAA) yagambye nti, omuntu waabwe yakiraga nti mulwadde ng’asaba okweyimirirwa era n’alaga nti abasawo be bali bweru wa ggwanga.

Okuba nga yagenze, baabadde tebakitegeddeeko nti kyokka tewali nsonga emulobera kugenda kujjanjabibwa.

Yagasseeko nti, ku Mmande yeeyanjudde nga bwe yalagirwa era omusango ne gwongezebwayo okutuuka nga October 1, 2018 Kayihura lw’anadda mu kkooti.

Yagambye nti, beetegefu okwaηηanga buli ludda oluwaabi kye lwesigamyeko mu musango guno n’ategeeza nti, byonna ebivunaanibwa Kayihura temuli nsa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...