TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda ababeera mu Amerika balidde obulamu ku lyato nga bafundikira olukung'aana lwa UNAA Causes

Bannayuganda ababeera mu Amerika balidde obulamu ku lyato nga bafundikira olukung'aana lwa UNAA Causes

By Josephat Sseguya

Added 5th September 2018

BANNAYUGANDA besozze eryato mu Amerika ne baseeyeeyezza ku liyanja lya Atlantic Ocean mu nkola emanyiddwa nga Boat Cruise kwe beeragidde emisono buli omu okukakasa munne naddala abawala abato.

Boatunaa201846 703x422

Guno gwe gumu ku mikolo egyakoleddwa ekibiina ekigatta Bannayuganda abali mu Amerika ekya UNAA Causes ekyategese ebikujjuko ebimaze ennaku ennya nga biri mu kibuga Washington DC ekya Amerika. Babadde mu Gaylord Resort hotel. 

David Muwanga, pulezidenti wa UNAA Causes ne James Sserumaga ssentebe waakyo, baalangiridde mu kuggalawo ebikujjuko bino ebyatuumibwa Summer's Ultimate Event nti, omwaka ogujja bigenda kubeera Manhattan mu kibuga New York mu Amerika.

Guno gwe mulundi ogwasinze okujjumbirwa abantu ng'emu ku nsonga yabadde ya kuleeta bbandi ya Afrigo n'abayimbi abalala abaabadde abangi abaakubye omuziki abacakaze ne bamatira, enteekateeka, abantu okwesiga UNAA Causes, ebintu ebirala ebyabaddeyo omuli n'okusomesebwa eby'enfuna, pulojekiti omuli eya Clean water ng'ekibiina kya UNAA Causes kiyamba okutuusa amazzi amayonjo ku Bannayuganda abali e Uganda nga kiyita ku Miss Uganda n'ensonga endala.

Muwanga yeebazizza abantu abaavudde mu masaza ag'enjawulo ng'abamu baavudde na bweru wa Amerika omuli Canada, Uganda, Bungereza, Australia, South Amerika n'awalala.

alt=''

 

 

 David Muwanga, Pulezidenti wa UNAA Causes ng'ayogera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kamunguluze 220x290

Bamuggunze eng'uumi n'awunga

TONY Bellew baamuwumizza ekikonde 'tonziriranga', ne kitakoma ku kumusubya musipi, wabula ne kimuleka ng'awunze....

Suzanmuwonge 220x290

Engeri Susan Muwonge gy’alidde...

Mu mpaka ezaawedde eggulo e Mbale, Super Lady (musomesa), yawangudde Mbale Rally bwe yavugidde essaawa 01:33:38...

Toronto 220x290

Mutabani wa Mesach ekintu akiwanise...

Katende ali ku misomo mu Toronto University mu Canada gye yalagidde obukugu mu kucanga omupiira era empaka zaagenze...

Ssekamatte1 220x290

Muwala ki ono akozesa Ssekamatte...

MU basajja abalidde obulamu, Grace Ssekamatte gwe baakazaako erya ‘Kirikitya’ tomubuusa maaso.

B2c 220x290

Abavubuka ba B2C badduse ku Andy...

AGAVA e Bbunga ge g’abavubuka ba B2C okwecangira ku maneja waabwe Andy Mugerwa (mu katono) amanyiddwa nga Andy...