TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ab’ekika ky’Engabi bagaanyi omukulu w’ekika eyalondeddwa ne bawera okumutwala mu kkooti

Ab’ekika ky’Engabi bagaanyi omukulu w’ekika eyalondeddwa ne bawera okumutwala mu kkooti

By Paddy Bukenya

Added 5th September 2018

Ssaabalangira Joseph Kasobya ategeezezza nti ye yalina okusumika Nsamba omuggya nga bwe kirambikibwa mu buwangwa kyokka ne bamugoba ku mukolo ne bayiwawo abaserikale olwo ne bateekako ssaabalangira ow’ekicupuli eyakola omukolo ogwo mu mankwentu.

Lubegamukaakungaayogeramulukungaanalwabweebuwanadakumbugayekika3 703x422

Lubega Mukaaku ng'ayogera mu lukung'aana lwabwe e Buwanada ku mbuga y'ekika. Mu katono ye Magandaazi eyalondebwa ku bukulu bw'ekika.

ABEKIKA ky’e Ngabi basimbidde ekkuuli omukulu w’ekika kyabwe eyatuuzibwa ku mudumu gw’emmundu ne bawera nti baakugenda mu kkooti ebasalirewo.

Bakulembeddwaamu ab’omutuba omukulu mu kika  ogwa Muyomba oguvaamu omukulu w’ekika ky’e Ngabi nga baakunganidde ku mbuga yaabwe e Buwanda mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi ne bawera nti baakugenda mu kkooti esalewo eggoye ku mukulu w’ekika kyabwe, Lozio Magandaazi gwe bagamba nti yatuuzibwa mu bukyamu okusinziira ku bulombolombo bw’ekika n’obuwangwa.

Bano nga bakulembeddwaamu Ssaabalangira w’omutuba gwa Muyomba, Joseph Kasobya baategeezezza nti tebajja kukkiriza Ssaalongo kubasikira kubanga kimenya mateeka mu buwangwa.

Bagattako nti omukulu w’ekika eyaliko, Joseph Kamoga Nsamba yalaamira mutabani we (Magandaazi) okumusikira wabula si kusikira ntebe ya Nsamba kubanga waliwo emitendera egigobererwa okulonda Nsamba ekitaakolebwa era ne bawera nti singa kooti ya Kisekwa eremererwa okusala omusango gwabwe baakugenda mu kkooti amateeka gasalewo.

Baategeezezza nti si baakwetemamu ku nsonga eno kubanga ekika kiyinza okusaanawo olw’omukulu w’ekika gwe baabakakaatikako mu bukyamu  kubanga bakimanyi bulungi nti eby’obugagga by’ekika Magandaazi ayagala kubiteeka mu mikono gye ng’omusika wa Nsamba ng’ate yasikira kitaawe so si bya bugagga bya kika.

Samuel Lubega Mukaaku ategeezezza nti ekyali emabega w’okulemesa ab’omutuba gwa Muyomba okwenyigira mu mikolo g’yokutuuza Nsamba be b’oludda lwa Magandaazi okuba mu kakodyo k’okubba ettaka era ne baleeta ekiraamo ky’omugenzi nga kiraga nti ettaka ly’ekika lyonna yaligabidde abaana be ng’ate tekikkirizibwa.

Ssaabalangira Joseph Kasobya ategeezezza nti ye yalina okusumika Nsamba omuggya nga bwe kirambikibwa mu buwangwa kyokka ne bamugoba ku mukolo ne bayiwawo abaserikale olwo ne bateekako ssaabalangira ow’ekicupuli eyakola omukolo ogwo mu mankwentu.

Ayongeddeko nti omusango gwabwe guli Mengo mu Kkooti ya Kisekwa kyokka n’agamba nti abakaayanira obwa Nsamba balina ebigendererwa bya kubba bya bugagga naddala ettaka erya yiika 1750 lye babadde batandise okutunda kyokka n’awera nti baakubalemesa era n’asaba abeekika okukwatira wamu batandikewo pulojekiti gye baafunamu ssente bakulaakulanye ekika.

Ssaalongo Lozio Magandaazi yatuuzibwa ku bukulu bw’ekika ky’e Ngabi nga September 13, 2017  wakati mu byokwerinda eby’amaanyi oluvannyuma lwa kitaawe Joseph Kamoga eyali omukulu w’ekika okufa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.