TOP

Gav't etandise okussa kamera ku nguudo

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2018

GAVUMENTI etandise entegeka z’okussa ku nguudo kamera 5,552 mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu okwongera okuketta abamenya amateeka.

Vlcsnap2018083018h56m05s193 703x422

Abakozi nga basima ebinnya omugenda okusimbibwa kkamera z'oku nguudo okulondoola abamenyi b'amateeka n'abakola effujjo

Pulezidenti Museveni ye yalagira kamera zissibwe ku nguudo okuketta abamenya amateeka oluvannyuma lw’abatemu okutta eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu bukambwe obw'ekitalo.

Okusinziira  ku nsonda mu poliisi, buli kitebe kya poliisi mu kitundu (divizoni) kijja kubaamu abalondoola kamera zino.

Kamera 100 ze zaakassibwa ku nguudo mu Kampala n’emirirwano. Kampala ebaddemu kamera ntono nnyo ezassibwawo mu biseera by’okukyala kwa kwiini mu Uganda.

 mu kukamera eziketta abamenyi bamateeka no eri ku luwundi ya arden ity Emu ku kkamera eziketta abamenyi b'amateeka. Eno eri ku luwundi ya Garden City

 

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi, Patrick Onyango yagambye nti kamera 5,552 ze zigenda okussibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Kampala n’emirirwano egenda kussibwamu kamera 3,233 mu bifo 1,248 era kkampuni y’Abachina eya Huawei y’egenda okukola omulimu guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ziika1 220x290

Ssaalongo yalese eddaame ekkabwe!...

SSAALONGO Erisa Ssendaaza Semuwubya olwafudde, mikwano gye gy’abadde yateresa eddaame lye ne baliggyayo ne balisomera...

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...