TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Togikwatako: Ababaka bazzeeyo mu kkooti ku okuwakanya eby'okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Togikwatako: Ababaka bazzeeyo mu kkooti ku okuwakanya eby'okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2018

ABABAKA ba palamenti mukaaga bagenze mu kkooti ey’oku ntikko nga bawakanya ebyasalibwawo kkooti ya Konsityusoni bwe yakkiriza okuggya ekkomo ku myaka gy’ayagala obwa Pulezidenti bwa Uganda.

Mpsdonningredbandsatparliament 703x422

Abamu ku babaka abawakanya okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

ABABAKA ba palamenti mukaaga bagenze mu kkooti ey’oku ntikko nga bawakanya ebyasalibwawo kkooti ya Konsityusoni bwe yakkiriza okuggya ekkomo ku myaka gy’ayagala obwa Pulezidenti bwa Uganda.             

Nga December 20 omwaka oguwedde palamenti yayisa ebbago erikirizza okukyusa Konsityusoni n’eggyibwemu ekkomo ku myaka gy’ayagala obwa Pulezidenti.

Konstyusoni yali egamba nti omuntu ayagala obwa Pulezidenti alina kutandikira ku myaka gy’obukulu  35 nga tasussa 75 era singa tekyakyusibwa Pulezidenti Museveni teyandibadde na mukisa guddamu kwesimbawo mu 2021 kuba ajja kuba asussa 75.

Bwe yakyusibwa kati omuntu yenna asussizza emyaka 18 wa ddembe okwesimba ku bwa Pulezidenti. Era ensonga zaatwalibwa mu kkooti ya Konsitityusoni eyakiriza palamenti yakikola mu mateeka.

Kyokka ababaka abaajjulidde mu kkooti y’okuntikko  bagamba nti kino kkooti ya Konsityusoni yakikola mu bukyamu era baagala kikyusibwe ekkomo ku myaka giddewo. 

Abaagenze mu kkooti y’okuntikko kuliko;  Gerald Karuhanga (Ntungamo Munisipaali), Jonathan Odur (Erute South), Mubarak Munyagwa (Kawempe South), Allan Ssewanyana (Makindye West), Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali)  ne  Winfred Kizza (mukazi Kasese).

Baawadde ensonga eziwerako ze bagamba nti abalamuzi okulangirira nti okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti tekwamenya Ssemateeka wa 1995 kyali kikyamu.

Era bawakanya n’ekyasalibwawo kkooti nti Pulezidenti teyakola nsobi okussa omukono ku tteeka ly’okukyusa Konsityusoni okuggyamu ekkomo ku myaka.

Bagamba nti abalamuzi baakola nsobi okutegeeza nti abajaasi okuyingira mu palamenti ne bafulumya ku kifuba ababaka abaali balemesa okuteesa ku by’okukwata ku Konsityusoni kyakolebwa mu mateeka kuba baali batabulatabula okuteesa. Era bawakanya n’ekya kkooti okusalawo nti kino tekirina ngeri gye kyakosa bya kuteesa ku by’okukwata ku Konsityusoni.

Bawakanya ebyasalibwawo abalamuzi nti omubaka Raphael Magyezi eby’okuleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka yakikolera mu mateeka wadde yesalirawo yekka  okukireeta nga tatumiddwa gavumenti. Era bawakanya n’ebyasalibwawo nti sipiika Rebecca Kadaga yali mutuufu okufumuula mu palamenti ababaka abasinga abaali bawakanya okukyusa Konsityusoni.

Baagala ebbago ly’okukyusa Konsityusoni okugiggyamu ekkomo ku myaka lisazibwemu.Era n’ebyokukiriza abaagala obwa ssentebe bwa disitulikiti okuggyibwako ekkomo ku myaka bisazibwemu.

Baagala kkooti egaane ebitongole ebikuumaddembe okuddamu okukozesa eryanyi okukuba n’okutulugunya ababaka ba palamenti nga bali ku mirimu gy’okuteesa kuba kimalako palamenti okwetengerera ng’ekola emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi