TOP

China esonyiye amawanga ga Afrika amabanja

By Muwanga Kakooza

Added 5th September 2018

CHINA egenda kusonyiwa amawanga ga Afrika amabanja .Era egenda kuwa Afrika obuyambi bw’ensimbi obuweza ensimbi za Uganda obuwumbi 226 ($60 billion).

406646011379038548898232808731273706078208n 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ali ne munne owa China, XI Jinping

Pulezidenti wa China , XI Jinping yalangiridde bino ng’ayogera mu lukung’ana lw’enkolagana ya China ne Afrika mu kibuga Beijing n’agamba nti amawanga agakyakula China egenda kugawolanga ssente okutali magoba kigasobozesa okwerwanako mu by’enfuna.

Amawanga ga Afrika amanaku agakyali mu mbeera embi, agalina amabanja amangi, agatalina myalo ku nnyanja ennene  n’ago agalina enkolagana ne China ge gagenda okusonyiyibwa amabanja.

Uganda y’emu ku mawanga ga Afrika agagwa mu ttuluba ly’ebisaanizo Pulezidenti Jinping bye yayogeddeko.

Pulezidenti Jinping  yagambye nti China ekyali ku mulamwa gw’okulaba ng'ensi ebeeramu enkulaakulana n’emirembe buli kiseera.

’’ China efuba okulaba ng’etereeza obulamu bw’abantu bonna era egenda kukolagana n’amawanga amalala mu kutumbula eby’entambula ng’okukola enguudo," XI Jinping bwe yategeezezza.

Obuyambi bw’ensimbi ezigenda okuweebwa amawanga ga Afrika bugenda kuyitira mu kuyamba gavumenti wamu n’okukola nayo bizinensi.

Ezimu ku nsimbi ez’okuweebwa Afrika kuliko; ez’obwereere (grants obuwumbi 56 mu za Uganda), looni ezitaliiko kusaba magoba, n’okussaawo ensawo ey’enjawulo ya obuwumbi 18 ez’okuyamba mu nkulakulana ya Afrika. Endala obuwumbi 37 ez’okukola ku kugula ebintu ebikolebwa mu Afrika ne bitundibwa mu China. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.