TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Bakafulu mu kuzannya komedi baakuttunka ku ntujjo ya komedi

Bakafulu mu kuzannya komedi baakuttunka ku ntujjo ya komedi

By Martin Ndijjo

Added 5th September 2018

Patrick Idringi 'Salvado' ne bakafulu mu kuzannya komedi okuva mu mawanga ga Afrika baakuttunka mu ntujjo ya komedi.

Sal 703x422

Patrick Idringi ‘Salvado’ (ow'okusatu ku kkono) n'abakungu okuva mu kkampuni ezitadde ssente mu ntujjo ya komedi

KIGENDA kubeera kijjobi ku wooteri ya Serena nga bakafulu mu kuzannya komedi battunka ku ntujjo ya komedi etumiddwa ‘Africa Laughs Season IV’

Bannayuganda bakulemeddwamu Patrick Idringi ‘Salvado’ aweze okussa abalabi enseko abaleeke nga bamunyenyeza mutwe.

Entujjo eno etegekeddwa Idringi n’aba aba Singleton egenda kubaawo nga October 8 era bakazannyirizi bangi okuva mu nsi za Afrika  bagenda buli omu okulaga ky’alinawo.

Ng’ayogera ku nsike ya komedi mu ggwanga okuba nti eddiridde era bangi tebakyamufunamu wadde nga komedi kye kimu ku buntu ebisinga okwetanirwa okubaggyako situleesi,

Idringi embeera eno agitadde ku bakazannyirizi obutakuuma mpisa nga n’abamu balowooza komedi wa kuweemula.

“kkomedi abantu bamwagala nnyo era ssente zikyalimunaye okufunamu olina okwewa kiraasi n’ekitibwa naye olw’omuze gw’abamu okwagalirawo kizibuwadde.

Ekirala komedi w’okuwemula naye simulungi. Bw’omuzannya mu bbaala abantu ne bafa enseko tekitegezezza nti ky’okola kirungi kimanye nti oli mu batamivu abagala okuwuulira ebyo.

Era wano wasinzidde okubirizza bakazannyirizi banne okwekolamu omulimu  bakolere wamu n’okwekolamu omulimu ssekinomu okuzimba amannya basobole okufuna bizinensi enene nga babapangisa ssente eziweerako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...