TOP

Zaake bamwekebejjeza obulago n'omugongo

By Kizito Musoke

Added 6th September 2018

ABASAWO mu ddwaaliro lya Manipal Hospitals erisangibwa mu kibuga New Delhi ekya Buyindi baatandikidde mu kwekebejja bulago n’omugongo gw’omubaka Francis Zaake owa Mityana Munisipaali.

Whatsappimage20180905at23021pm 703x422

Zaake yasitula ku kisaawe e Ntebe okugenda e Buyindi ku Mmande akawungeezi. Poliisi yasooka kumuggyako sitatimenti n’aggulwako emisango gw’okutoloka ku poliisi mu Arua n’ogw’okulya mu nsi olukwe.

Bridget Namirembe, mukazi wa Zaake yagambye nti abasawo baatandise okwebejja bba ku Lwokubiri.

Okusinziira ku mbeera y’omulwadde gye yabaddemu abasawo baasazeewo okutandikira mu kukebera omugongo n’obulago balabe ekimuleetera obulumi.

Abasawo baasazeewo okumuteeka mu kasenge ‘ICU2’ akali mu waadi y’abalwadde abali obubi.

Olw’okuba ng’abasawo baabadde tebannaba kumala kumwekebejja kimuleetera bulumi tebaamulaze na lunaku lwe basuubira kumusiibula.

Namirembe yagambye nti wadde nga bba alumizibwa nnyo, alina okukkiriza nti ajja kutereera kuba abasawo abamuliko bafaayo nnyo.

Yagambye nti n’ekyokubeera ng’omulwadde ali mu kifo w’atafunira nnyo bagenyi asuubira nti kijja kumuyamba okuwona amangu.

Guno mulundi gwakubiri nga Zaake, atwalibwa ebweru w’eggwanga okujjanjabwa nga yasooka kutwalibwa mu America mu November w’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okukubibwa amagye mu Palamenti.

Okufaananako ne ku mulundi guno era Gavumenti teyamuwadde ssente za bujjanjabi. Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, bwe yabadde ayogera mu lukunhhana lwa bannamawulire ku Media Centre yategeezezza nti embeera ya Zaake ne Bobi Wine bwe baabeekebejja baakizuula nga kyali tekyetaagisa kubatwala bweru.

Obulwadde bwabwe bwali busobola okujjanjabibwa mu Uganda, kyokka olw’okuba baali basazeewo okwesasulira okujjanjabirwa ebweru w’eggwanga tewali ngeri Gavumenti gye yali eyinza kubagaana.

Ebbaluwa eyakolebwa abasawo b’e Lubaga, Dr. Andrew Ssekitooleko n’agiteekako omukono ng’esemba Zaake okutwalibwa ebweru w’eggwanga yategeeza nti, omulwadde yali yakosebwa amagumba g’omu nkizi, obulago awamu n’amagulu ate ng’alimu n’okugugumuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”