TOP

Bobi Wine bamukozeeko

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

MUKULU wa Bobi Wine, Fred Nyanzi gwe baakazaako erya ‘Chairman Nyanzi’ agambye nti mu kiseera kino abasawo mu America bamaze okumwekebejja okuzuula ebitundu ebyakosebwa era ne batandika okumujjanjaba amagumba.

71c9370cf5004a69a0124e91319bb138 703x422

Nyanzi yagambye nti ebyavudde mu musaayi n’ebikwata ku bitundu okugeza ng’ensigo tebinnaba kufulumizibwa nga mu kiseera kino bakyalinda ebinaavaayo.

Wabula kati bakyakola ku biwundu, amagumba n’ebinywa ebyakosebwa.

Omubaka Robert Kyagulanyi okugenda mu Amerika kyaddiridde okusalawo okugenda okujjanjabibwa olw’obuvune obwamutuusibwako bwe yali akwatibwa amagye omwezi oguwedde mu kalulu k’okulonda omubaka w’ekibuga Arua nga August 14, omwaka guno.

Nyanzi yagambye nti ku Lwokubiri nga beeyambisa tekinologiya owoomulembe, baakoze ku magumba g’omu kiwato ekimu ku bitundu by’abadde asinga okukaaba obulumi.

Yagambye nti mu kiseera kino embeera Bobi Wine gy’alimu teyeeraliikiriza wadde ng’alumizibwa naye balina essuubi nti ajja kuba bulungi.

“Njogeddeko ne Bobi antegeezezza nti buli kimu kitambula bulungi twongere okumusabira era n’okumulongoosa okwamukoleddwaako kwatambudde bulungi”, Nyanzi ataayagadde kwogera ddwaaliro Bobi Wine mw’ali olw’ebyokwerinda bwe yategeezezza eggulo ku ssimu.

Ku ky’ensigo Bobi z’abadde akaaba, Nyanzi yategeezezza nti, abasawo bakyazeekebejja okulaba oba ddala ziri mu mbeera mbi oba ekyetaagisa okufuna endala oba basobola okujjanjaba z’alina ne ziwona bulungi.

Mukulu wa Bobi omulala, Eddie Yawe, yagambye nti ebibadde byogerwa nti baamusanzeemu obutwa mu musaayi ssi bituufu kubanga ebyavudde mu musaayi tebinnamanyika, nti n’ekifaananyi ekiri ku mitimbagano ekiraga Bobi ng’ali mu byuma era ng’alabika ng’ali bubi si bituufu, bya bantu abazannya katemba.

N’asaba abantu baleme kuzannyira mu nsonga eno kubanga bagenda kuwubisa abantu era n’abasaba babeesonyiwe balinde ekiva mu bbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana