TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balaam ne Abtex bakubaganye empawa ku by’okukuba Bebe Cool

Balaam ne Abtex bakubaganye empawa ku by’okukuba Bebe Cool

By Martin Ndijjo

Added 6th September 2018

ABATEGESI b’ebivvulu abaamannya bakubaganye empawa ku ffujjo eryakoleddwa ku muyimbi Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga ku Cricket Oval e Lugogo mu kivvulu ky’Omujamaica Tarrus Rairry.

Kolawo 703x422

Abantu baalemesezza Bebe Cool okuyimba ne batuuka n’okumukanyugira amacupa ku siteegi okutuusa abebyokwerinda bwe baamuggyeewo.

Balaam Barugahara amanyiddwa nga ‘Ssaabavvulu’ yavumiridde effujjo eryakoleddwa e Lugogo n’abasaba okukomya ebikolwa by’okulwana n’okukola effujjo ku bantu bwe baawukanya endowooza naddala mu byobufuzi.

Kyokka ye Abtex (Abbey Musinguzi) yagambye nti Bebe Cool ky’akoze okuyimiriza ebivvulu ky’abadde alina okukola kubanga abavubuka bamukyaye olw’empalana gy’alina ku Bobi Wine.

Ono agamba nti Bebe Cool obutavaayo kulaga kunyolwa olw’ebyo ebyatuuka ku Bobi Wine kye kimuleetedde obuzibu era n’amuwa amagezi yeetondere Bobi Wine.

Kino Balaam yakiwakanyizza n’ategeeza Abtex nti akomye okutabinkiriza ebyobufuzi mu kuyimba.

Yasuubizza nti abategesi b’ebivvulu bagenda kutuula mu bwangu embeera eno bagisalire amagezi.

Bano okuvaayo kiddiridde Bebe Cool okulangirira nga bw’ayimirizza okuyimba mu bivvulu n’ebifo by’olukale okumala ebbanga eritali ggere.

Bebe Cool mu bigambo bye yagambye nti; “Mbadde nasasalawo okusirika obutayogera ku nsonga za byabufuzi ezigenda mu maaso naye olw’embeera eyantuuseeko ku Lwokutaano ekiro, olw’obulamu bwange n’obulungi bwa famire yange nsazeewo okuyimiriza okuyimba mu bivvulu era nsaba Katonda embeera eriwo mu kiseera kino ereme kusajjuka.”

EDDIE YAWE AYOGEDDE

Eddie Yawe mukulu wa Bobi Wine bwe yabuuziddwa ku nsonga eno yasoose kusaasira Bebe Cool olw’ekyo ekyamutuuseeko kyokka n’agamba nti effujjo eryamukoleddwaako teryagendereddwa kukolebwa ku ye.

“Bebe Cool ky’alina okumanya, ekintu Bobi Wine ky’ayambadde kinene okumusinga n’okusinga ku myuziki mw’amumanyidde. Era singa (Bobi Wine) naye akeera n’ayogera ebibooziboozi, abantu basobola okumuyisa mu mbeera yeemu nga Bebe Cool bwe baamuyisizza.”

N’agattako nti, “Obucupa baabadde tebabukuba Bebe Cool kubanga myuziki we abantu bangi abamwagala, naye kirabika balina ekifaananyi ky’omuntu kye bamulabiramu.” Kyokka yasabye abantu okwewala okukola effujjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba