TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omukazi alumirizza bba ku poliisi okubuza omwana waabwe amusaddaake

Omukazi alumirizza bba ku poliisi okubuza omwana waabwe amusaddaake

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

Kitaawe w’omwana ono yeegaanyi byonna ebimwogerwako mukyala we nti bino byonna byakumwonoonera linnya kubanga ye tasobola kusaddaaka mwana we.

Mukazi23 703x422

Zauja Namusisi n'omwana we ku poliisi. Mu katono ye Ssejjombwe.

BYA NAZIFAH NAMPEERA 

Abafumbo Zawuja Namusisi ne Richard Ssejjombwe baayombedde ku poliisi ya CPS ng’entabwe eva ku mwana waabwe, Gideon Kyeyune, 9 okubula ng’ava ewa kitaawe e Kalagala Luweero kyokka n’asuulibwa e Mpereerwe ku luguudo lw’e Gayaza ng’eno omuvuzi wa bodaboda gye yamuggye n’amuleeta ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Poliisi yanoonyerezza n’ezuula bazadde b’omwana n’ebayita mu ofiisi y’amaka n’abaana, eno Zauja gy’alumiririzza bba okumusaba omwana we kyokka nga yabadde ayagala kumusaddaaka naye ne bimusala olw’okwanguwa n’aloopa ku poliisi nga Ssejjombwe we yatiiridde n’alagira abantu abaaleese omwana we ne bamusuula e Mpereerwe. Zauja era alumiriza Ssejjombwe okubeera n’amasabo ng’era alina n’abaana abalala be yasaddaaka.

Omwana ye bw’abuuziddwa agambye nti waliwo mukwano gwa kitaawe eyajja n’emmotoka n’amugamba nti alinnye amutwale ewa kitaawe kyokka bwe baatuuka gy’atamanyi n’aggula emmotoka olwo ye omwana n’amuyita mu nkwawa n’adduka.

Kitaawe w’omwana ono yeegaanyi byonna ebimwogerwako mukyala we nti bino byonna byakumwonoonera linnya kubanga ye tasobola kusaddaaka mwana we.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire annyonnyodde engeri gye baafunyeemu omwana ono era n’ategeeza nti omwana addiziddwa nnyina nga n’okunoonyereza ku ngeri omwana ono gye yatuuseemu e Mpereerwe bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...