TOP
  • Home
  • Buganda
  • Omusajja aloopye mukazi we okumubba naye n’amulumiriza okukukuta  n’omukazi

Omusajja aloopye mukazi we okumubba naye n’amulumiriza okukukuta  n’omukazi

By Paddy Bukenya

Added 6th September 2018

Wabula wabaddewo katemba Lunkuse bw’atuuse ku poliisi n’alangira bba, Bisaso okukukuta n’omukazi gw’ayita ssenga we kumbe mukazi we nga kino kye kyabawalirizza okunoba.

Ebintubyabisasobyakuttenemukaziwe 703x422

Ebimu ku bintu ku mmotoka, Bisaso (mu kafaananyi akatono wansi) by'agamba nti byabbiddwa Lunkuse (mu kafaananyi akatono waggulu).

 

OMUSAJJA atutte mukazi we owoolubuto ku poliisi ng’amuvunaana kumubba
bintu bya mu nju omukazi n’amulangira okumugattika ne ssenga we.

Deo Bisaso 32, makanika w’emmotoka e Mayembegambogo mu kabuga k’e Mpigi
yatutte mukazi we abadde yanobye, Joan Lunkuse ku poliisi y’e Mpigi ng’amuvunaana okumubba ebintu by’omu nnyumba byonna gattako okumusiba olubuto lw’agamba nti si lulwe.

Bisaso okukwata mukazi we ono gw’abadde amaze naye emyaka mukaaga kiddiridde Lunkuse okunoba n’asiba ebintu by’omu nnyumba okuli entebe, ekitanda, emifaliso ebiri, firiigi n’ebirala n’abikweka mu muzigo gwe yapangisizza wabula n’amulinnya akagere n’atwalayo poliisi
ne babitikka ku mmotoka ne mukazi we owoolubuto olukuze n’amutwala ku
poliisi n’amuggulako emisango gy’okubba ebintu n’akakadde k’ensimbi.

Wabula wabaddewo katemba Lunkuse bw’atuuse ku poliisi n’alangira bba, Bisaso okukukuta n’omukazi gw’ayita ssenga we kumbe mukazi we nga kino kye kyabawalirizza okunoba.

Lunkuse ategeezezza poliisi nti Bisaso abadde aleeta omukazi ono gw’ayita ssenga mu maka gaabwe ne bamujooga okutuusa lwe yabategedde nti muganzi we n’asalawo okubaviira beeyagale bulungi.

Ayongerako nti omukazi ono yasooka kubeera nga muwabuzi wa bufumbo bwabwe nga Bisaso amuyita ssenga kyokka oluvannyuma n’atandika okuwabya Bisaso ng’amugamba ng’olubuto bwe lutali lulwe era Bisaso n’atandika okuyomba n’ekigendererwa ky’okumugoba mu maka.

Poliisi y’e Mpigi etegeezezza nti Bisaso yasooka kwekubira nduulu nti Lunkuse yamubbye akakadde k’ensimbi kyokka n’azimuddiza era ne bamuwa amagezi okutabagana bwe kiba kibalemye bagende mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Abagambibwa okutta Bayinvesita...

Abagambibwa okutta Bayinvesita bakwatiddwa abalala babataddeko obukadde 10

Kam2 220x290

Abagambibwa okusanga akawanga ka...

Abagambibwa okusanga akawanga ka maama waabwe mu ssabo beebazizza Museveni okubayamba

Tip2 220x290

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana...

Ssemaka yecanze n'azaalukuka omwana we

Tot1 220x290

Vision Group etandise enteekateeka...

Vision Group etandise enteekateeka y'ekivvulu kya Toto

Jose11 220x290

Abaggyeemu obwesige

ManU, eri bubi nga mu Premier eri mu kifo kyamunaana nga Man City ekulembedde ebasinza obubonero 12.