TOP

Muk'eyali omubaka Kyanjo afudde

By Dickson Kulumba

Added 6th September 2018

Hajjat Sumayiya Nakato ng’ono mukyala w’eyali Omubaka wa Makindye West, Hajj Hussein Kyanjo eyavudde mu bulamu bwensi ku Lwokusatu akawungeezi mu ddwaliro e Kisubi,aziikibwa leero e Ntuuma - Bukomansimbi mu ssaza ly’e Buddu.

Img20180906wa0014 703x422

Omugenzi Hajjati Sumayiya Nakato

Omukyala ono abadde atawanyizibwa obulwadde bw’omutima ng’era gyebuvuddeko yatwalibwa e Buyindi nafuna obujjanjabi ng’abadde kati ajjanjabirwa awaka ku ddagala eryamuweebwa.

Hajj Kyanjo ategezezza Bukedde enkya ya leero nti yabadde ku Pulogulamu ku leediyo eyitibwa Impact FM ku Lwokusatu akawungeezi nalaba essimu ya mukyala we ng’ekuba bwatyo namuwereza obubaka ng’amusaba alindeko era olwamaliriza Pulogulamu naddamu okukuba essimu kyokka yakwatiddwa muvubuka akola awaka.

“Bwenamukubidde yantegezezza nti Hajjat agudde wansi nange kwekusambyako kyokka olwa jjaamu ku luguudo lw’e Ntebe nasazeewo okukubira muliranwa wange e Bwerenga nemusaba okutuuka awaka alabe Hajjat kyabadde.

Olwatuuse namuggyayo namutwala mu ddwaliro e Kisubi, nagenze okutuukayo nga bambikira nti afudde,” Hajj Kyanjo bweyanyonyodde ku kyabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda