TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebikwata ku Kazibwe Bashir Mbaziira ayagala ekya UJA

Ebikwata ku Kazibwe Bashir Mbaziira ayagala ekya UJA

By Musasi wa Bukedde

Added 6th September 2018

TUKULEETEDDE ebikwata ku Kazibwe Bashir Mbaziira 32, omu ku beesimbyewo ku kifo kya Pulezidenti wa bannamawulire mu Uganda mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Journalists Association (UJA) mu kulonda okugenda okubaawo ku Lwomukaaga nga September 9, 2018

409645179327660469067633031925157795987456n 703x422

Kazibwe Bashir Mbaziira (wakati) ayagala obwapulezidenti bwa UJA

Mbaziira nga mu kiseera kino mukozi ku Bukedde Fa ma Embuutikizi era nga yakola pulogulaamu y’Ekirya atabaala okuva ssaawa 9.00-11.00 ez’olweggulo.

Bwakunyumiza obulamu bwe olabira ddala nga ye muntu omutuufu okukulembera UJA.

Nzaalibwa Bukomansimbi e Masaka nga nzaalibwa abagenzi Abudallah Kazibwe ne Maaama Rukia Nakalema.

Nasomerako mu Kabaseegu Universal Pentecostal Primary School, gye nava ne ntuulira P7 e Ndwage, neegatta ku Mende Kalema Secondary School mu Wakiso gye natuulira S4 ate S6 nagituulira Kibibi Secondary mu Butambala.

Neegatta ku Islamic University in Uganda (IUIU) gye nafunira Diguli mu byamawulire. Nagattako Dipulooma mu by’okunoonyereza mu byamawulire (Investigative Journalism ) gye nafunira mu Ankerer State University mu Turkey.

Nkoze ku mikutu egyenjawulo nga Voice of Africa, Pearl FM, Ssuubi FM nga kati nkolera ku 100.5 Bukedde Fa Ma Embuutikizi.

LWAKI NSAZEEWO OKWESIMBAWO OKUKULEMBERA BANNAMAWULIRE

  • Ngenda kufuula UJA kalondoozi wa bannamawulire abo ababa batuusiddwaako obulabe nga bakola omulimu gwabwe. Nze ne ttiimu ya UJA enaalondebwa tujja kuteekawo Munnamateeka ng’aliwo kulwanirira bannamawulire yonna gye bali okulaba nga bafuna obwenkanya mu mateeka.
  • Njagala kutandikawo SACCO eyambako bannamawulire okutereka n’okwewola ensimbi singa baba n’obwetaavu.
  • Nzize kuziba bituli ebiremesezza bannamawulire okuganyulwa mu mulimu gwabwe.
  • Ngenda kuteekawo engeri y’okufuna okutendekebwa okwenjawulo okwongera ku bukugu bwaffe naddala mu ngeri gye tukolamu emirimu nga bannamawulire mu Uganda ya leero.
  • Munnamawulire yenna anaalonda Kazibwe Bashir Mbaziira okukulembera ekibiina kyaffe ,ogenda kuba okoze okusalawo okulungi okw’okutumbula embeera ya munnamawulire wa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka