TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. efunye obuwumbi 565 okutumbula eby’obulimi

Gavt. efunye obuwumbi 565 okutumbula eby’obulimi

By Henry Nsubuga

Added 7th September 2018

Gavumenti efunye obuwumbi 565 okutumbula eby’obulimi-essira liteereddwa ku kulima mmwanyi, muwogo, kasooli, omuceere n’ebijanjaalo.

Mknmaaif52 703x422

Kamisona Stephen Byantware ng’ayogera mu lukungaana ku Rider Hotel e Seeta.

Gavumenti eriko ensimbi obuwumbi 565 bw’efunye ng’ebbanja okuva mu bbanka y’ensi yonna nga zino zigenda kuyambako okutumbula eby’obulimi mu disitulikiti za Uganda 42.

Okusinziira ku kamisona Stephen Byantware avunaanyiribwa ku birime mu minisitule y’eby’obulimi, obulunzi n’obuvubi, enteekateeka eno egenda kuganyula ebirime bitaano okuli, emmwanyi, muwogo, kasooli, omuceere n’ebijanjaalo ng’egenda kuba ekolebwa mu bbanga lya myaka mukaaga.

“Enteekateeka eno eri wansi wa ‘Agriculture Cluster Development Project’ (ACDP) egendereddwamu okulaba ng’abalimi abalima ku bugazi bw’ettaka obuwerako era nga bafulumya ebirime ebiwerera ddala n’ekingedererwa eky’okwongera ku birime ebitwalibwa ebweru w’eggwanga esuubirwa okuganyula abalimi 450,000. Egenda kuteekebwa mu nkola aba minisitule y’eby’obulimi,” Byantware bwe yategeezezza.

Okwogera bino, Byantware yabadde mu lukungaana olw’etabiddwamu abakugu ku mitendera egy’enjawulo omuli abo abava mu minisitule, abava mu bibiina ebigatta abalimi mu ggwanga, abava mu kitongore ekitumbula eby’amaguzi ebitwalibwa ebweru w’eggwanga, ekitongole kya UNBS ekivunanyizibwa ku mutindo n’ebirala nga lwatudde ku Rider Hotel e Seeta ku Lwokuna.

Byantware yagambye nti abalimi bagenda kuba baweebwa buli kyetaagisa okuviira ddala ku nsigo, eddagala eryeyambisibwa mu kufuuyira, ebijimusa, ebikola mu kukungula n’okusomesebwa enkwata y’ebirime nga bimaze okukungulibwa ne kalonda omulala mungi.

Yagambye nti bano bagenda kuba bakozesa tekinologiya amanyiddwa nga electronic voucher system.

Beatrice Namaloba, omukugu mu minisitule y’eby’obulimi yagambye nti enteekateeka eno egenda kuba etandikibwako mu disitulikiti ttaano okuli Kalungu, Ntungamo, Iganga, Amuru ne Nebbi mu mwezi 12 egiggya ng’oluvannyuma eggya kuba ebunyisibwa mu disitulikiti zonna 42.

Namaloba yagambye nti buli kyetaaagisa enteekateeka eno okutandika kiwedde nga ssaawa yonna egenda kuba etongozebwa mu disitulikiti y’e Kalungu mu bbanga eritali ly’e wala.

Namaloba yagambye nti enteekateeka eno erubiriddwamu okusuumusa abalimi ebitundu 68 ku buli 100 okuva ku ssa ly’okulima emmere ey’okulyako obuli basobole okufuuka abalimi abalima mu bungi n’ebigendererwa eby’okutunda bye balima ate nga batunuulira katale k’ebweru w’eggwanga.

“N’olwekyo engeri y’okukwatamu ebirime naddala mu kiseera eky’amakungula nayo yaakuteekebwako nnyo essira okulaba nga bisigala nga biri ku mutindo okusobola okukuuma akatale k’ensi yonna nga kayaayaanira ebirime ebiva mu Uganda,” bwe yannyonnyodde.

Ate dayirekita Beatrice Byarugaba okuva mu minisitule y’eby’obulimi yagambye nti mu nteekateeka eno era bajja kuba batumbula omutindo gw’ebirime bino ebigenda okuteekebwako essira.

John Bosco Lwere avunaanyizibwa ku mawulire ag’obutale mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kutumbula ebyamaguzi ebitwalibwa ebweru w’eggwanga yagambye nti ebirime ebitundibwa ku katale k’ensi yonna bye bimu ku bisinga okuyingiza ensimbi mu kittavvu ky’eggwanga.

Lwere yagambye nti mu mwaka 2017, eby’obulimi ebitundu 42 ku buli 100 bye byatundibwa ku katale k’ebweru w’eggwanga sso ng’ate mu mwaka gwa 2016, byali ebitudnu 37 ku buli 100.

Ono yategeezezza nti okuleka akatale ka European Union, olwaleero n’akatale mu mawanga agali mu Middle East ne Asia nako kalabika nga weekali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...