TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ayiiridde muka mwana kaamulali mu mbugo lwa musajja

Ayiiridde muka mwana kaamulali mu mbugo lwa musajja

By Musasi wa Bukedde

Added 7th September 2018

Namuyomba yagambye nti Nagujja yamuyita bulungi awaka kyokka bwe yagendayo n’amulwanyisa ne muwala we okukkakkana ng’amuyiye tampeko ya kaamulali mu bitundu bye eby’ekyama era na kati alumizibwa ng’abatuuze bagala ave ku kyalo.

Kasozi7 703x422

Omuserikale Sebaggala ng'ayogera mu lukiiko. Mu katono ku kkono ye Naggujja ate ku ddyo ye Namuyomba.

 

POLIISI y’e Kasangati eyitiddwa bukubirire okutaasa nnyazaala ayiiridde muka mwana kaamulali mu mbugo ng’amuteebereza okumwagalira musajja we.

Bino bibadde ku kyalo Nkolempomye e Kasozi mu Ggombolola y’e Busukuma mu munisipaali y’e Nansana, abatuuze bwe balumbye amaka ga Babirye Naggujja agambibwa okuyiwa tampeko ya kaamulali mu mbugo za Moureen Namuyomba gw’ateebereza okumwagalira bba Shafik Mukasa  ng’ono baamusangirizza waka nga baagala bamwekolereko kyokka bw’alabye abatuuze ne yeesibira mu nnyumba. Kino kibanyiizizza be baagala okukoona ennyumba ye nga wano poliisi w’etuukidde n’ebakkakkanya.

Namuyomba yagambye nti Nagujja yamuyita bulungi awaka  kyokka bwe yagendayo n’amulwanyisa ne muwala we okukkakkana ng’amuyiye tampeko ya kaamulali mu bitundu bye eby’ekyama era na kati alumizibwa ng’abatuuze bagala ave ku kyalo.

Omukwanaganya wa Poliisi n’omuntu waabulijjo ku Poliisi e Kasangati, Sulayiman Sebaggala yasabye abatuuze nti bwe baba baagala okumugoba ku kyalo balina kusooka kuwandiika bbaluwa ng’eriko emikono gy’abatuuze abeemulugunya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda