TOP

abayimbi bakoze ekibiina okugoba eby'obufuzi mu nsike y'okuyimba

By Martin Ndijjo

Added 7th September 2018

Abayimbi Henry Tigan,Buchaman ne Kian Banks bakoze ekibiina n’omulamwa gw’okugoba eby’obufuzi mu kuyimba.

Tg 703x422

okuva ku kkono; Henry Tigan, Kian Banks ne Buchaman mu lukung'aana lwa bannamawulire.

ABAYIMBI Henry Tigan ne Buchaman bakoze ekibiina n’omulamwa gw’okugoba eby’obufuzi mu kuyimba.

Ekibiina bakituumye ‘Yut A Yut’ ekivvunnulwa nti omuvubuka asigala muvubuka.

Era nga bali wamu ne Kian Banks bakoze oluyimba ‘Dikuula’ omuli obubaka obuvumira bannabyabufuzi n’abantu abalala abakozesa abavubuka okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

Basinzidde mu kulung’aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza e Luzira ne bategezza nga ensike y’okuyimba eyolekedde okusaanawo singa ebuutikirwa ebyobufuzi.

Bano bagamba ebyobufuzi bijjudde obukyayi n’empalaana kati tosobola kubireeta mu kuyimba okugatta abantu.

bawadde eky’okulabirako ekya Bebe Cool eyagobeddwa ku siteegi olw’okumulabira mu kifaananyi ky’ebyobufuzi.

Ng’ogyeko abayimbi, bagamba ekibiina kigendereddwamu  kukyusa bavubuka okuva mu mbikolwa by’obumenyi bw’amatteeka n’okubabuulira obutakirizza kukozesebwanga entakera mu bikolwa by’okwekalakasa nti kubanga bino bangi bafuniddeyo ebizibu abalala bangi bali mu makkomera.

“Abavubuka tufuuse kya kukkozesebwa. Wadde ffe abasinga obungi mu ggwanga, bavubuka bannaffe tubakubirizza okweyisa obulungi buli omu lwajja okutuuka ki kirooto kye era tubeere bakozi tuve mu by’okutukozesa mu bintu ebikyamu” Tigan ne Buchaman bwe bagambye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...