TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNRA gwe yamenyedde ennyumba e Kyebando akukkuluma olw’obutamusasula

UNRA gwe yamenyedde ennyumba e Kyebando akukkuluma olw’obutamusasula

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 8th September 2018

ANNET Alupo 45, ow’e Kyebando Kisalosalo g’akaaba g’akomba oluvannyuma lw’ekitongole kya UNRA okumumenyera ennyumba ye mwabadde asula ne famire ye ng’agamba nti tebaamusasula.

Sasula 703x422

Aba UNRA nga basenda ennyumba ya Alupo

Alupo agamba nti aba UNRA baasooka kumuwa emitwalo 49 nga zaali zaakumuliyirira kaabuyonjo gye baali baamenya.

Yayogeddeko nti oluvannyuma nga bamaze okukola ekkubo baagenda mu maaso ne boonoona ennyumba ye ne baddamu ne bamusasula obukadde 18 ez’okugiddaabiriza.

Yawakanyizza bye bagamba nti baamusasula n’agamba nti ssente ze baamuwa zaali za kuddaabiriza ebyo bye baali boonoonye.

Ku Lwokusatu aba UNRA baagenze e Kyebando ne bamenya ennyumba ya Alupo era baasoose kulemesebwa olw’omuntu eyayingidde mu nnyumba n’agaaniramu wabula ne bamukkakkanya n’avaamu.

John Bosco Ssejjemba eyakulembeddemu omulimu gw’okumenya ennyumba eno okuva mu UNRA yategeezezza nga Alupo bwe yasasulwa edda obukadde 25 kyokka n’ategeeza nti oluvannyuma lwa UNRA okumala ebbanga nga tebannayisa luguudo mu kifo kino, yeekyusa nti tasasulwanga.

Yategeezezza nti ekitongole kirina empapula ezikakasa ensonga eno n’agamba nti kiyinzika okuba ng’ekyamuwubisa kwe kuzimuwanga mu bitundutundu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...

29243df2f7bc3e5c325b36c37a17a53dc8cb3ab9 220x290

Eyali Pulezidenti yeekubye essasi...

EYALI Pulezidenti wa Peru, Alan García 69, yeekubye essasi ne yetta poliisi bw’ebadde egenda okumukwata ng’emuvunaana...

Pros 220x290

Gavt. ereeta etteeka ku mobile...

GAVANA wa Bbanka Enkulu mu Uganda, Emanuel Tumusiime Mutebile agambye nti, Gavumenti egenda kuleeta etteeka ku...

Cardinal 220x290

Kalidinaali Wamala ayogedde ku...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe n’ategeeza nti, talina kimuluma kyonna okuggyako obukadde....