TOP

Omulamuzi aggye enta mu musango gw'obutujju

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2018

SSAABAWAABI wa Gavumenti, Mike Chibita aggye enta mu misango gy’obutujju gye baddamu okuggula ku basajja bataano be bejjeerezza ku musango gw’okutega bbomu ezatta abantu e Kyadondo Rugby Club e Lugogo abali balaba empaka za World Cup.

Save 703x422

Bano ye Dr. Ismeal Kalule, Abubakar Batemyeto, Owadi Omar Wadi,Yahaya Mbuthia Suleiman ne Muhamad Hamid.

Baddamu okubakwatira ku kkooti enkulu e Kampala mu 2016 oluvannyuma lw’omulamuzi Alfonse Owiny Dollo okubejjeereza emisango.

Baggulwako emisango gy’obutujju n’okwekobaana okukola obutujju kyokka oludda oluwaabi bwe lulabye nga terulina bujulizi mu misango gino basazeewo okugibaggyako era omulamuzi Margret Oguli Oumo owa kkooti Enkulu n’alagira bateebwe.

Kyokka Owadi Omar Wadi, Yahaya Mbuthia Suleiman ne Muhamad Hamid balagiddwa okuzzibwayo e Kenya kyokka Omar Wadi n’ajulira ng’agamba nti munnansi wa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Flavia1 220x290

Omukazi avuuniddwa kuguza abayeekera...

Akech kigambibwa nti y'omu ku bantu abaludde nga baguza abayeekera mu South Sudan emmundu ng'ono azijja mu Uganda....

Komera 220x290

Omuserikale w'ekkomera akubye omusibe...

Okello olumaze okukuba Nyorwani amasasi musanvu naye ne yeekuba essasi mu bulago n'afiirawo.

Kirumira1 220x290

Kkooti eyagala kutabaganya Jack...

KKOOTI ebaze enteekateeka okutabaganya Jack Pemba n'omugagga Godfrey Kirumira nga October 17 omwaka guno. Kirumira...

Koma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte Bobi Wine e Ntebe okumuleeta e Kampala. Eby’afande Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.