TOP

Okusonyiwa Roofings omusolo kitabudde kkanso

By Musasi wa Bukedde

Added 8th September 2018

ABAKULEMBEZE b’e Mukono bafunye obutakkaanya ku musolo ng’entabwe evudde ku kakiiko k’ebyensimbi n’okuteekerateekera ekibuga okuvaayo ne kategeeza nga bwe baasalawo okusonyiwa kkampuni ekola ebizimbisibwa eya Roofings obukadde 96 kw’ezo ezaali zigibayimbwa abamu kye bagamba nti, si kya bwenkanya.

Vaawo 703x422

Abamu ku bakansala mu kkanso y’e Mukono.

Bano okutabuka kyaddiridde kansala w’abakadde William Magera okuvaayo n’ategeeza nti, Roofings ng’eyita mu bapuliida baayo aba Lukwago and Company Advocates bwe baasaba aba Munisipaali y’e Mukono okubaako omusolo gwe babasonyiwa.

Magera yategeezezza nti, ku bukadde 168 ze baali babanja Roofings nga zino zonna zaali za musolo baasaba basonyiyibweko ekitundu olwo basasule obukadde 72 nga baasooka kusasulako obukadde 60 n’oluvannyuma basasule obukadde obulala 12.

Yayongeddeko nti mu lukiiko olwatuula nga June 14, 2018 ne August 10, 2018 bakkiriziganya okusonyiwa Roofings omusolo guno, n’oluvannyuma batandike bupya okusasula omusolo omulala.

Kino kyatabudde abamu ku bakansala ne balangira kkanso okubeera n’ekyekubiira mu nsolooza y’omusolo ng’abasuubuzi abamu battirwa ku liiso. William Makumbi nga ye kansala akiikirira Ggulu ng’agamba nti singa kkanso eneesonyiwanga kkampuni ezimu omusolo kyandivaako n’abalala okwekwasa ne bagaana okugusasula.

“Bannange nze kino sikikkiriza kuba kya bulyazamaanyi, bwe tunaatandika okusonyiwa kkampuni zino ennene ezeesobola olwo buno obutono bwo bukole butya?”, bwe yabuuzizza.

Ye Amyuka Meeya wa Mukono, Jamadah Kajoba yagambye nti “twatuula ne Roofings ku nsonga zino ne tukkiriziganya ensonga tuziggye mu kkooti era naffe ne tukikkiriza. Twabasaba basasuleko ekitundu ku musolo gwe tubabanja kubanga zonna awamu baatutegeeza nti zaali zibalemeredde era kye baakola.”

Wabula kansala w’abavubuka mu Munisipaali, Patrick Ssekatawa yategeezezza nti ebyakolwa byonna baayitamu mu mitendera emituufu, kuba Roofings eri ku mutendera gwa kkapuni ennene mu Africa, nga kirabika waliwo ekizibu ekirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...

Nara 220x290

Poliisi etadde ebiragiro ku bifo...

POLIISI eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya....

Pati 220x290

Abaasimattuse abatujju e Kenya...

EGGULO ku Lwokusatu mu biseera eby’okumakya, pulezidenti wa Kenya yayogedde eri eggwanga n’ayozaayoza ebitongole...

Vutu 220x290

Kamera gwe yakwata ng'abba essimu...

OMUVUBUKA eyanyakula essimu ku musaabaze mu takisi n'adduka nayo asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n'avunaanibwa...