TOP

Nnaalongo abaana abayonseza ku ndagaano

By Lawrence Kitatta

Added 8th September 2018

OMUKAZI asobeddwa mu ddwaaliro e Nsabya muwalawe gye yatwalibwa oluvannyuma lw’okuzaala n’ayisibwa bubi bw’aweereddwa bbiiru ya ssente 1,800,000/-.

Mala 703x422

Nnaalongo Nabatanzi yazadde Nakato ne Wasswa.

Asattira ye Aisha Nabukalu omutuuze mu Zooni ya Masajja ‘A’ mu Makindye oluvannyuma lwa muwalawe Fatuma Nabatanzi okuzaala abalongo naye n’avaamu omusaayi mungi n’azirika.

Wadde bazzukulu be baabamuwadde ne Nnaalongo eddwaaliro ne limuta, abaana abayonseza ku ndagaano oluvannyuma eddwaaliro okubawa emyezi 12 ng’ebbanja ly’eddwaaliro alisasudde.

NABUKALU ANNYONNYOLA

Agamba nti Nnaalongo Nabatanzi muwala wa mwannyina era y’amukuzizza. Abadde alina akasomero gy’akolera ng’omufumbi ng’ava waka okugenda okukola. Kyokka lumu bwe yagenda teyadda ng’afunye omusajja Hakim Zizinga ow’e Ndejje.

Yamufunyisa olubuto n’azaala balongo kyokka n’avaamu omusaayi mungi era n’azirika. Nabadde nnina emitwalo asatu bwe nazisasudde kaasiya n’ahhamba hhende nnoonye ssente endala.

AB’OKU KYALO BASONZE

Nazze ku kyalo ne nnoonya ensimbi ne zibula ne ntambula mu batuuze nnyumba ku nnyumba nga nnoonya ssente.

Ku kyalo nafunyeeyo emitwalo 25 ne nzira e Nsambya nga nsuubira zimala kyokka kaasiya nahhamba nti bbiiru ya 1,813,600/-!

Nasasuddeko ssente 550,000/- eddwaaliro ne limpa emyezi 12 nga buli luvannyuma lwa myezi esatu nsasulayo 315.000/- okutuusa ebbanja nga liweddeyo kyokka simanyi gye zigenda kuva.

NNAALONGO ATOTTODDE

Zizinga namusanga nga nkola ku ssomero ne tutandika okupepeya. Bwe nafuna olubuto ne ntya ssenga ne nsala okutandika okubeera ne Zizinga. Bwe natuuka ewuwe yangoba mukwano gwange n’atandika okunsuza nga bwe njiiya.

Olubuto bwe lwa nnumye kwe kugenda ewa Mulerwa nzaale naye nayisiddwa bubi ne n’andeeta e Nsambya.

Bbiiru y’eddwaaliro bwe yalinnye Ssaalongo ne yeegaana abaana kyokka nga mu kusooka yajja n’abakuba ebifaananyi n’abisaasaanya mu booluganda lwe bonna.

Nsaba abazirakisa okunnyambako nsasule bbiiru y’eddwaaliro kubanga bazadde bange baafa ssenga y’ankuzizza.

AB'E NSABYA B'OGEDDE

Robert Kakooza akulira ebyensimbi mu ddwaaliro e Nsambya yakakasizza ensonga zino n'agamba nti omukyala Nabatanzi amulina mu bitabo by’eddwaaliro era lye lyamukoledde endagaano kw’alina okusasulira ebisale by’eddwaaliro.

ZIZINGA ABAANA BY’AGAMBA

Ekiriwo kiri nti, omuwala oyo ebbanga lye namala naye nga twagalana saamanya nti afunye olubuto kuba twayawukana ahhambye nti ndi mwezi nnina abawala bangi tagenda kunsobola.

Nagenda ne we yali abeera nga yasengukawo saamanya nti yali afunye olubuto ate naye teyaddamu kunkubira ssimu yadde obubaka.

Jjuuzi yankubidde essimu nti azadde abalongo nga seetegese yadde okukola enteekateeka yonna.

(Essimu ya Nnaalongo eri ku 0701734473, 0755885857)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...