TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Kirumira ne by'azze akola ebimufudde owa poliisi ow'enjawulo

Kirumira ne by'azze akola ebimufudde owa poliisi ow'enjawulo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th September 2018

Kirumira yaweerereza ku poliisi ya Kampalamukadde ng’alina ejjinja limu we baamuggya okumuteeka ku poliisi ku kisaawe e Nakivubo.

Kirumiraofice9650430703422 703x422

Omugenzi Kirumira

 • Kirumira yaweerereza ku poliisi ya Kampalamukadde ng’alina ejjinja limu we baamuggya okumuteeka ku poliisi ku kisaawe e Nakivubo.
 • Wano yakolawo okumala ekiseera ne bamuzzaayo ku kitebe e Kampalamukadde.
 • Yalinnyisibwa ku ddaala ne bamusindika e Nakulabye n’afufumya ababbi era eno yavaayo nga yeekokkola nti abagaba ebicupuli bamulimiridde mu bakama be ne bamukyusa.
 • Yasindikibwa e Kikaaya eno gye yataayiriza abavubuka ba Kasolo group era ajjukirwa ng’avuga akagaali ku Northern Bypass ng’agoba ababbi.
 • Oluvannyuma yasindikibwa e Nansana. l Nayo yavaayo ng’ababbi bamwasimula bugolo ne bamuzza mu Kisenyi ku poliisi ya Muzaana.
 • Oluvannyuma yaddizibwa e Nansana kyokka eno yafunirayo ebizibu ne bamuggalira era yasinziira mu kaduukulu e Nsambya n’ayogera n’abaamawulire ku ssimu.
 • Baamusindika n’addayo okutendekebwa e Jinja olwavaayo ne bamusindika e Kasese ku nsalo ya Uganda ne Congo.
 • Yakomezebwawo mu Kampala ng’afunye amayinja asatu n’afuulibwa omuduumizi wa poliisi ya Kampalamukadde gye baamuggye okumutwala e Buyende.
 • Poliisi yamuggulako emisango egyenjawulo n'akwatibwa n'aggalirwa e Nalufenya. Oluvannyuma emisango egisinga gyamuggyibwako era abadde akyogera lunye nti ye tajja kudda mu poliisi agenda kuyingira byabufuzi zeesimbewo avuganye mu kifo ky'omubaka wa Palamenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai