TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Bulenga bayombedde we battidde Kirumira: Beekalakaasizza Poliisi n'ekuba amasasi okubagumbulula

Ab'e Bulenga bayombedde we battidde Kirumira: Beekalakaasizza Poliisi n'ekuba amasasi okubagumbulula

By Ponsiano Nsimbi

Added 9th September 2018

Ab'e Bulenga bayombedde we battidde Kirumira: Beekalakaasizza Poliisi n'ekuba amasasi okubagumbulula

Yomba2 703x422

Abantu bayombeddde e Bulenga ku Musoke stage ku luguudo lw'e Mityana we battidde Kirumira.

Bano okuyomba kyaddiridde Poliisi okulwawo okutuuka mu kifo we battidde omuntu waabwe era bakira bagirumiza nti bateebwa okuba nga bamanyi ani yasse omuntu waabwe.

Oluvannyuma baavudde mu mbeera ne baziba oluguudo ne beekalakaasa nga balaga obutali bumativu ekyawalirizza Poliisi n'abamagye okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula nabo ne babaanukuza n'amayinja.

Mu kuvuvung'ano kano, bannamawulire babiri okuli owa NBS TV n'owa CBS Radio baalumiriziddwa ne naddusibwa mu ddwaaliro nga biwalattaka.

Oluvannyuma lwa Poliisi okugobawo abantu , Poliisi yasibye kaguwa okutangira abantu okutaataaganya okunooneyereza kwabwe kyokka abantu baavuddewo baseka nti baaluddewo okutuuka ekyo tekibayamba.

alt=''
alt=''
alt=''
alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...