TOP

Omuwala eyattiddwa ne Kirumira Muhammad azuuse!

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 9th September 2018

Omuwala eyattiddwa ne Kirumira Muhammad azuuse!

Whatsappimage20180909at113058am1 703x422

Omuwala eyattiddwa ne Kirumira Muhammad azuuse!

Amannya ge amatuufu ye Resty Nnaalinnya (25). Abadde mutuuze w'e Bulenga era nga mukwano gwa Kirumira.

Nnaalinnya yakubiddwa masasi n'omusirikale Muhammad Kirumira  ng'abattemu  bano abagambibwa okuba nti baabadde batambulira ku pikipiki ezitaasobose kutegeerekekako nnamba baalondodde mmotoka ya Kirumira  era okumukuba amasasi  baasoose kukuba masasi mu bbanga  okugumbulula abantu abaabadde bakyali mu kkubo.

Ali Mabirizi mwannyina wa Nnaalinnya  omutuuze w'e Bulenga  ategeezezza nti obutemu buno bwabaddewo ku  ssaawa 3:30 ez'ekiro ky'Olwomukaaga.

Agamba nti abazigu baasoose kukuba masasi mu bbanga mu bbanga okugumbulula abantu abaabadde bakyali mu kkubo olwo abasuubuzi abaabadde mu maduuka ne baggalwo ne badduka olubabu.

Yagambye nti  mu ntono nnyo amasasi gaasingiridde kumukumu era ekyaddiridde kubika nti Kirumira y'akubiddwa amasasi ne mwannyinaze Resty.

Mabirizi ategeezezza nti baatuuse mangu awaabadde amasasi olwo ng'abantu bakung'aanye ne babaggya mu mmotoka kyokka ne bakizuula nga bakyalimu akassa olwo Kirumira ne bamussa mu takisi ne bamutwala mu ddwaaliro e Mulago okutaasa obulamu ate Nnaalinnya n'assibwa mu mmotoka ekika kya G-Touring n'addusibwa mu ddwaaliro e Lubaga kyokka bonna oluvannyuma ne bafa.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...