TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Entaana ya Kirumira e Mpambire ewedde okusimwa. Abaayo bawanda muliro

Entaana ya Kirumira e Mpambire ewedde okusimwa. Abaayo bawanda muliro

By Paddy Bukenya

Added 9th September 2018

Entaana ya Kirumira e Mpambire ewedde okusimwa. Abaayo bawanda muliro

Mpambire8 703x422

Abatuuze e Mpambire, Kirumira w'agenda okuziibwa bakyayongobedde olw'okuviirwako omwana waabwe enzaalwa.

Okuva Kirumira we yalangirira nti avudde mu Poliisi ng'omuntu, n'agamba nti ab'e Mawokota North baagala abakiikirire mu Palamanti, babadde bamulinamu essuubi ddene wadde ng'abadde tannalondebwa.

Elvis Katongole, omu ku mikwano gye abadde atambula naye ng'agenzeeko e Mpigi, agamba nti Kirumira abadde mumalirivu okuvuganya ku ky'omubaka wa Mawokota North era abadde yaatandika dda okusisinkana abantu naddala mu mikolo egibeera mu Mpigi.   

Abantu kye bamwogerako;                            

Jamirah Naluyange w'e Mpigi; Pulezidenti Museveni asooke yekenenye abantu baakola nabo naddala mu byokwerinda kuba obutemu obuliwo ennaku zino bulabika nga bukolebwa bakugu nga batendeke era bamanyi bulungi kye bakola.

Badru Kateregga; Nze ndaba nga gavumenti eremeddwa okukuuma abantu baayo kuba Kirumira baamuteekako ku lukalala lw'abagenda okuttibwa naye n'ataweebwa bukuumi ne bakituukirizza ne bamutta.

Sheikh Alafat Makondeere; Katusuubire ku luno gavumenti enaavaayo ne alipoota ennung'amu ku nfa y'omwana waffe kuba obutemu bwonna obuzze bubaawo naddala mu Basiraamu tewali yali avuddeyo ku nfa yaabwe mu bulambulukufu.

Yusu Mutyaba; Omugenzi abadde waaluganda lwange ate nga mukwano gwange era nga n'emikolo egimu gye bamuyitako mu Mpigi antuma ne mukiikirira bw'aba tasobodde naye kibigambo by'azze eng'amba alinga abadde akimanyi nti anaatera okufa.

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...